Musasi waffe
Bannayuganda okuva mu bitundu byonna eby’eggwanga bakubiriziddwa okugenda ku Bulange okwenyigira mu nteekateeka ya Kabaka Foundation okugaba omusaayi basobole okutaasa obulamu.
Omulanga guno gukubiddwa Oweek. Ahmed Lwasa, omumyuka wa Sipiika w’Olukiiko lwa Buganda bwabadde mu kuggulawo olusiisira lw’ebyobulamu mu bimuli bya Bulange enkya ya leero.
Lwasa ku mukolo guno abadde akiikiridde Katikkiro wa Buganda Oweek. Charles Peter Mayiga.
“Tewali musaayi gwebakola wabula guva muffe era ffe tugenda okutaasa obulamu bwa bannaffe. Tukubiriza Bannayuganda okugaba omusaayi okutaasa obulamu. Buli lw’ogaba omusaayi oba okoledde ddala ekisinga omugaso mu bulamu bw’omuntu,” Lwasa bwagambye.
Annyonyodde nti Ssaabasajja Kabaka ayagala nnyo abantu be babe balamu kyova olaba nga bakola ensiisira z’obulamu olutata buli lwebafuna omukisa.
“Kiba kibi Kabaka okukola emikolo nga gino ate nemutajja mu bungi. Katikkiro atukubiriza okuba abakozi naye tulina okuba abakozi nga tuli balamu n’olw’ensonga eyo, mwe abeekebezza muli baamukisa nnyo naye mukubirize n’abalala bonna abali eyo bajje,” Lwasa bwagambye.
Kululwe, minisita avunanyizibwa ku by’obulamu Dr Prosperous Nankindu Kavuma, agambye ng’oggyeko okugaba omusaayi, olusiisira lw’omulundi guno olugenda okuggwa enkya lulimu n’okwekebeza akawuka ka mukenenya wamu n’obulwadde bw’ekibumba obumanyiddwa nga Hepatitis B, okujjanjjaba amannyo, okukebera kansa w’omumwa gwa nnabaana n’ebirala.
“Tugezaako okulaba nga tuyita mu kitongole kya Kabaka Foundation omuntu ava wano ng’afunye byonna. Ng’Obwakabaka tetunnafuna ddwaliro naye tetujja kulirinda kubanga ssente teziriiwo.
Twagamba katusooke tutaase obulamu era bino byebimu ku byetukola,” Nankindu bwagambye.