• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Bannayuganda bakooye amasasi ne ttiyaggaasi – Katikkiro Mayiga

Gambuuze by Gambuuze
October 21, 2020
in Agafa e Mengo
0 0
0
Bannayuganda bakooye amasasi ne ttiyaggaasi – Katikkiro Mayiga
0
SHARES
1
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa ne Gerald Mulindwa

Mmengo

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, ategeezezza abakungu ba poliisi nti, Bannayuganda bakooye okukubwa ttiyaggaasi n’amasasi nga noolwekyo balina okukoma ku bikolwa bino.

Katikkiro Mayiga n’abakungu ba poliisi oluvanyuma lw’okwetonda

“Uganda ekooye obusambattuko, Uganda ekooye amasasi n’omukka ogubalagala, ensonga eno esaana okwetegerezebwa n’okutereezebwa,” Mayiga bw’agambye.

Owek. Mayiga annyonnyodde nti abapoliisi bangi bakozesa eryanyi eriyitiridde nga bakwata abamu ng’abamu babakuba ate nga n’abalala battiddwa olw’obukambwe buno.

Mayiga agasseeko nti abapoliisi balina okukimanya nti si buli lwe balaba abantu nga bakung’aanye balina kubakubamu ttiyaggaasi n’amasasi kuba okukwasisa amateeka n’ebiragiro obulungi bwetaaga bukugu okusinga obukambwe.

Owoomumbuga okukangula ku ddoboozi abadde mu nsisinkano n’abakungu ba poliisi abakulembeddwa omukwanaganya wa poliisi n’ebyobufuzi, Asan Kasinge, leero ku Lwokubiri mu Bulange e Mmengo.

Owek. Mayiga ategeezezza nti mu poliisi mulimu abasirikale abonoona linnya lyayo nga bakozesa obukambwe obuyitiridde okukwasisa amateeka n’ebiragiro.

Katikkiro Mayiga agambye nti wadde bakkiriza okwetonda kwa poliisi naye aduumira poliisi y’e Mityana, Alex Mwine Mukono, alina okubonerezebwa ku kikolwa kino kubanga yatyoboola obuwangwa bw’ennono era nga n’olulimi lwe yakozesa lwali lukyamu.

“Omuduumizi ono asaana okubonerezebwa kubanga Omuntu teyeetaaga kubeera Mukatoliki okumanya nti ekitambiro kya Mmisa ssaala nkulu nnyo etasaana kutaataaganyizibwa,” Mayiga bw’ategeezezza.

Owek. Mayiga agambye nti ono teyeetaaga kusooka kubeera muganda okumanya nti Omukolo guno gwabadde gwa nnono n’okumanya nti alina okussa ekitiibwa mu mawanga.

Ono era yennyamidde olwa Mwine alina ennyota  okweyisa mu ngeri etyoboola ennyota ze wamu n’obutassa kitiibwa mu bakulembeze abalala omuli ne bannaddiini.

Afande Kasingye ategeezezza Katikkiro Mayiga nti bazzeemu nebeetegereza obutambi nebakizuula nti waliwo ensobi ezaakolebwa basajja baabwe abaali ku bikwekweto bino kubanga guno Omukolo gwali gwa nnono.

“Oluvannyuma lw’okumanya ensobi yaffe, twatudde netulaba ng’ekintu ekituufu okukola kwe kwetonda eri Obwakabaka bwa Buganda kubanga Omukolo guno gwabadde gwa nnono,” Kasingye bwe yeetonze.

Ono agasseeko nti Omukolo guno tegwategekebwa ku olwo era ng’akakiiko akalwanyisa Corona kalina okutuula n’abeekika ky’Embogo nebagonjoola ensonga okusooka singa waaliwo ebyali bitannaggwa.

Kasingye asuubizza nti bagenda kunoonya Omutaka Kayiira Gajuule bamwetondere awamu n’abantu bonna ab’ekika ky’Embogo era neyeeyama okukwatagana ne bannaddiini awamu n’ab’ennono okwewala ebikolwa nga bino okuddamu okubaawo.

Kinajjukirwa nti, Omuduumizi wa poliisi e Mityana, Alex Mwine Mukono, yalemesezza omukolo gw’okwebaza olw’obuweereza bwa Jjajja Kayiira Gajuule ng’Omukubiriza  w’abataka obukulu bwe yamalako emyaka 7, bwe baali basisinkanye ku Butaka bwabwe e Mugulu mu Mityana.

Afande Kasingye ne Katikkiro oluvanyuma lw’okwetonda

Omukolo guno gwetabiddwako Omutaka Muteesaasira nga yakiikiridde Omukubiriza w’Abataka omuggya, Namwama Augustine Mutumba, baminisita n’abakungu ba Kabaka.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.