Bya Ssemakula John
Toronto – Canada
Minisita Omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu mu Buganda, Owek. Joseph Kawuki awadde bannayuganda abawangaalira ebunaayira okwenyigira mu nteekateeka ezaateekebwawo Ssaabasajja Kabaka okulaakulanya abantu be.
Owek. Kawuki agamba kino kijja kubayamba okwezimba basobole okudda okwaboobwe nga balina webatandikira.
Okwogera bino minisita Kawuki asinzidde mu kibuga Toronto mu Canada gyali mukulambula abantu ba Kabaka abawangaalira mukitundu kino wamu n’okubazzaamu amaanyi era nokumanya embeera mwebawangaalira awamu nebyo ebibasomooza.
Bano abawadde amagezi ensimbi zabwe okuzissa mu nteekateeka y’okwefunira amayumba ku nsimbi ensaamusaamu beewale okubbibwa abantu bebawereza ensimbi okubaako byebabakolera.
Minisita Kawuki akubirizza abantu bano okussa ekitiibwa mu buwangwa n’ennono naddala ku mikolo egiriko obulombolombo ngokwabya ennyimbe awamu nokwanjula era beenyigira butereevu mu lutalo lw’okulwanirira Federo.
Ono yasoose kwetaba mu misinde mu bunnabyalo nga bbo ku mulamwa gwokulwanyisa mukenenya, baagasseeko obulwadde bw’omutwe obutawaanya ennyo abantu ensangi zino.
Owek. Kawuki yawerekeddwako Ssenkulu w’ekitongole ki Kabaka Development Foundation, Omuk. Edward Kaggwa Ndagala eyasabye abantu ba Kabaka okunyweza obumu basobole okulaakulana.
Bano balambuliriddwa ku nteekateeka y’emisinde gy’omwaka ogujja nga bwenatambula e Canada era nebamanyisibwa neku nteekateeka ya ‘The Royal Dinner’ egendereddwamu okusabira Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II awmu n’ Obuganda bwonna.