Bya Ssemakula John
Kampala
Abamu ku bannansiko abaalwana olutalo olwaleeta gavumenti ya Pulezidenti Museveni mu buyinza, beegasse ku bannayuganda okukungubagira Lt. Gen. Pecos Kuteesa eyafudde eggulo ku Lwokubiri.
Kuteesa yafiiridde mu ggwanga lya India mu Max Hospital erisangibwa mu kibuga New Delhi gye yali yaweebwa ekitanda.
Bano nga obubaka babutadde ku mitimbagano gyabwe, bano abaalwanako ne Kuteesa mu lutalo olwamala emyaka etaano, bamwogeddeko nga mwoyogwaggwanga era eggwanga lyafiiriddwa nnyo.
“Nakuwadde olw’okufa kwa Gen. Pecos Kuteesa (RO/0026). Uganda efiiriddwa mwoyogwaggwanga. Ono ye musajja eyawaayo buli kimu ku lw’ensi ye. Kibi nnyo tufiiriddwa nga eggwanga, UPDF awamu n’abooluganda lwe.” Lt Gen Henry Tumukunde bwe yawandiise ku mukutu gwe ogwa Twitter.
Mu ngeri yeemu Gen. Elly Tuwiine nga naye yeetaba mu lutalo lwa 1986, ayogedde ku Kuteesa ng’eyali munywanyi we eyakola byonna okununula eggwanga era atagenda kwerabirwa.
“Amawulire g’okufa kwa Kuteesa gankubye wala kuba, abadde muzira, abadde mukwano gwange okumala akaseera. Katonda agumye famire ye mu kaseera kano ak’okugezesebwa.” Tumwine bwe yagambye.
Maj Gen. Jim Muhwezi akungiriza emirimu gy’akoledde Uganda era n’asaba Mukama Katonda agumye aba famire ye.
Gen. Pecos Kuteesa yatendekerwa e Monduli Training Academy e Tanzania, Gen Pecos Kuteesa era yaliko omukuumi wa Pulezidentgi Museveni ng’akyali mu nsiko era kigambibwa nti ye yali amuwerekera buli lwe yabangako gy’alaga naddala ng’atambulira ku nnyanja Nalubaale ng’agenda e Kenya okunona emmundu ezaakozesebwa abayeekera ba NRA okulwanyisa gavumenti.
Lt Gen Pecos Kuteesa, yafiiridde ku myaka 65 abadde omu ku bagenero 14 ababadde baakawummuzibwa okuva mu ggye lya UPDF ku ntandikwa y’omwezi guno, ku mukolo ogwabadde mu maka g’Obwapulezidenti e Ntebe.