
Musasi Waffe
Bannannyini
kkampuni empozi y’essente eya Dunamiscoins Resources Limited olwaleero
balabiseeko mu maaso g’omulamuzi wakooti ya Law Development Centre nebaggulwako
emisango 65 nga gyekuusa kukufuna ssente mulukujjukujju. Samson Lwanga ow’emyaka
37 ne Mary Nabunya ow’emyaka 53 nga bombi batuuze be Makindye Ssabagabo mu
disitulikiti ye Wakiso bavunaanibwa og’okulimba
abantu nebabajjako ssente zaabwe nga babasuubizza okukola amagoba ag’amangu. Omuwaabi wa gavumenti yategeezezza kooti nti
wakati wa February 14 ne December 3 2019, bano beekobaana okujja sente kubantu
ekikontana n’amateeka. Kigambibwa nti bano bajja sente ku bantu eziri wakati we
500,000 n’obukadde 140 nga babasuubizza okuzibaddiza buli mwezi ku magoba ga bitundu 40 ku buli kikumi. Abawawaabirwa
emisango bagyeganye era omulamuzi nabasindika ku meere e Luzira paka nga
Gatonnya 22 bwebanadda mu kkooti okusomerwa emisango. Abawaabi ba gavumenti
bategeezezza nti abantu abasukka mu 4000, bebeemulugunya olw’okubbibwa.
Kkampuni eno yali erina amatabi agawerako mu Kampala, Masaka, Lira, Mbale
nawalala.