Bya Ssemakula John
Kampala
Bannannyini masomero abeegattira mu kibiina kya ‘Proprietors of Private Educational Institutions Association in Uganda (PPEIAU),’ basabye gavumenti okufulumya enteekateeka ennalambika ey’okuggulawo amasomero mu bwangu ddala.
Okusaba kuno kukoleddwa ssentebe w’ekibiina kino, Omuk. Mike Kironde bw’abadde ayogerako ne bannamawulire leero ku Mmande, ategeezezza nti gavumenti ebalese mu kizikiza ku nsonga eno kuba tebalina kulambikibwa kwonna kwali kubaweereddwa gavumenti, wadde ng’amasomero gasuubirwa okuggulwawo mu January 2022.
“Tusaba gavumenti efulumye enteekateeka mu bwangu. Olumu gavumenti eno ebintu ebikwata mu ngeri ya kasoobo.” Kironde bw’agambye.
Kironde agamba nti bannannyini masomero balinze kiva mu gavumenti basobole okwetegeka n’okulaba engeri gye bagenda okutambulamu naye ate tewali kanyego kyokka nga wabula omwezi gumu n’ekitundu amasomero okuggulawo.
“Tukitegeera, gavumenti erina emitendera egiwera mw’erina okuyita naye tusaba gavumenti eyanguyeeko ku nteekateeka y’okuggulawo.” Kironde bw’agasseeko.
Ye akola mu by’omutindo mu Minisitule y’ebyenjigiriza, Dr. Kedrees Turyagyenda, agamba nti gavumenti tekoze kasoobo wabula eyagala kwetegereza nsonga nga tennaggulawo ku lw’obulungi bw’abayizi.
Turyagyenda agamba nti Minisitule y’ebyenjigiriza yayungudde dda ttiimu zaayo okwetegereza embeera ku ngeri amasomero gye geetegese okuggulawo.
Ono annyonnyodde nti baliko abantu be basisinkanye ne babeebuuzaako era balina enteekateeka gye bakolako enaasobozesa amasomero okuggulawo.
Kinajjukirwa nti amasomero gaddamu okuggalwa mu June 18, 2021, naye ate abayizi b’ebibiina bya wansi okuva mu mwaka 2020 tebaddangamu kulinnya mu bibiina.
Okusinziira ku Dr. Turyagyenda, Minisitule y’ebyenjigiriza essira egenda kuliteeka ku bibiina bya wansi basobole okutuukana ne bannaabwe mu bbanga ettono.