
Bya Ssemakula John
Mityana – Ssingo
Banankobazambogo batandise kaweefube w’okusomesa bannabwe emirimu egy’emikono mu Ssaza Ssingo okusobola okulwanyisa ebbula ly’emirimu mu ggwanga.
Enteekateeka eno etandikidde ku Ssettendekero wa Mityana School of Nursing and Midwifery.
Ssentebe wa bassentebe ba Nkobazambogo, Kakeeto Haningiton Sseremba, yakuliddemu entekateeka eno nakuutira bannakibiina okwenyigira mu mirimu basobole okwekulaakulanya n’okukyuusa obulamu bwabwe.
Sseremba annyonnyodde nti emirimu gy’emikono gijja kusobola okubawa obukugu obwenjawulo n’okutangaaza emikisa gyabwe ebijja okubayamba okwebezzaawo baleme butanoonya nnyo mirimu kuba bajja kuba basobola okugyetandikirawo.
Bano baweereddwa obukugu omuli okukola Ssabuuni n’ebintu ebyenjawulo.

Mumbeera yeemu wabaddewo n’okusimba emiti mu ssomero lino era abakulembeze ba Nkobazambongo ab’enjawulo bakutidde bannabwe okukuuma Obutondebwensi.
Mungeri yeemu n’abayizi ba Nkobazambogo okuva ku Ssomero lya Mumsa High school Emityana, bakyusiza obukubulembeze bwabwe.
Omukolo gwabwe gutandise n’akabinkano era nga wano abayizi beesoyeza ebibuuzo by’Oluganda ebitali bimu era nga omuwanguzi abuseewo n’ekimeeme w’ embuzi,
Bo abayizi abafune obukulembe obuggya bategezezza nti Bagenda kutandika kaweefube ow’okutalaaga amasomero agatali gamu nga banyikiza abayizi okwenyigira mu Nkobazambongo,









