Bya Yusuf Muwuluzi
Masaka -Buddu
Bannamawulire b’e Masaka abeegattira mu Nyendo -Mukungwe Journalist SACCO eggulo baafunye enkata ya bukadde bwa siringi 30 zebagenda okukozesa okwekulaakulanya.
Bano be bamu ku bateekebwa mu nteekateeka eno ey’ Emyooga okuyamba abantu okweggya mu bwavu nga bayita mu kwewola awamu n’okutereka ensimbi.
Mu nkola eno abantu batereka ssente olwo gavumenti nebongerako basobole okwewola ssente eziwerera ddala okubaako byebatandikawo.
SACCO eno ezingiramu ebibiina 5 nga buli kibiina kirimu abantu 15 era nga babadde baatandika okutereka emyezi ebiri emabega nga kino kyekimu ku bukwakkulizo obwetaagisa okufuna ssente zino.
Akulira Microfinance Support Centre mu Masaka, Wilfred Katonbe yabakuutidde okuzikwata obulungi era n’asaba abatanatuukiriza bukwakkulizo bakikole kuba ziwolebwa ku magoba amatono ddala. Omwaka amagoba ga 8% ate omwezi ga 0.7%.
Abakulembeze ba SACCO eno okuli; Kutamba Wilson ne Aliga Yisa baasabye bannabwe obutakozesa sente zino bubi nga bwezijja okugasa abalala.
Bano balaze obuzibu bwebayiseemu okufuna sente zino okuli okukubiriza abantu okutereka wamu n’okujjuza empapula ennyingi ekintu ekibadde kyetaagisa obudde n’okwewaayo.