Bya Ssemakula John
Masaka
Akulira oludda oluvuganya mu Palamenti, Owek. Mathias Mpuuga asabye bannamawulire okuteeka abakulembeze ku nninga basobole okutuusa empeereza ku bantu.
Bino Mpuuga yabyogeredde Masaka bwe yabadde ayogerako eri bannamawulire wakati mu kulambula kw’emikutu gy’amawulire mu ggwanga.
“ Amawulire galina okuteeka abakulembeze ku nninga. Bannamawulire balina okubuuza ebibuuzo ebizibu eri abo abali mu buyinza si mu gavumenti mwokka naye n’oludda oluvuganya kuba zino woofiisi z’abantu ezirina okukozesebwa okutuusa empeereza ez’enjawulo ku bantu.” Mpuuga bwe yagambye.
Mu kulambula kuno, Owek. Mpuuga yawerekeddwako Minisita w’ebyamawulire mu gavumenti eyeekisikirize, Joyce Baagala, owa Tekinologiya Gorretio Namugga n’oweekikula ky’abantu, Fortunate Rose Nantongo era nga bano baalambudde ku mukutu gwa Leediyo Buddu.
“Tumanyi omulimu omukulu emikutu gy’Amawulire gye gikola ng’essiga lya gavumenti eryokuna. Tulina okuyambagana, tubasaba batuukirize obuvunaanyizibwa bwabwe mu ngeri etalina kyekubiira ,” Mpuuga bwe yagasseeko.
Mpuuga wamu n’abakulembeze abalala, baalambudde ebimu ku bitundu bya Masaka okulaba empeereza ez’enjawulo bwezituuka ku bantu awamu n’okumanya okusoomoozebwa abantu kwe balina.
Ono yakunze abakulembeze okukolera awamu okusobola okulwanyisa ekibbattaka ekiri mu bitundu eby’enjawulo.
Era abakulembeze yabasabye okwewala obulyi bw’enguzi kuba bulemesa empeereza ez’enjawulo okutuuka ku bantu.
Ate ye omubaka wa Kimaanya-Kabonera, Abed Bwanika yagambye nti okusobola okunnyikiza empeereza ez’enjawulo mu kibuga Masaka , balina okukola ku nsonga y’okuteekerateekera ekibuga kino obulungi.