
Bya Ssemakula John
Butooro – Mawokota
Abantu abawangaalira mu ssaza lye Mawokota basabiddwa okulwana bongere omutindo ku bintu eby’enjawulo byebakola kibayambe okweggya mu bwavu basobole okulaakulana nga bafuna akatale k’ebyo byebatunda.
Okusaba kuno kukoleddwa omwami wa Kabaka akulembera essaza Butambala, Katambala Sulaiman Magala bw’abadde mu mwoleso ogwategekeddwa ku mbuga y’essaza e Butooro mu ggombolola ye Kammengo mu disitulikiti ye Mpigi.
“Obuyiiya obw’ekika ekikambwe nti ggwe buli kyolabye ogezaako okukyongerako obuyiiya olwo ate okiggyemu ekirala bwebutyo bwetujja okutambula, ” Katambala Magala bwe yagambye.

Omwami wa Kabaka amulamulirako essaza Mawokota, Kayima Gabriel Kabonge nga yakulembeddemu enteekateeka eno asiimye bonna aboolesezza mu mwoleso guno nabonna abataddemu ensimbi okulaba nga gubaawo.
Asabye banamawokota okwongera okussa essira mu kutumbula eby’obulambuzi bye Mawokota byongere okuleeta abalambuzi mu ssaza lino nayanjula enteekateeka y’okusimba emmwaanyi yiika 500 ku ssaza mu nteekateeka y’Emmwaanyi Terimba.
Akulira ebyobuwangwa n’ennono ku lukiiko lwe ssaza Mawokota Birungi Elizabeth alambuludde ebintu ebiri ku ssaza Mawokota era nasaba Bannamawokota okuwagira enteekateeka z’Obwakabaka bwa Buganda.
Abolesezza abenjawulo beeyamye okukolera awamu n’Obwakabaka okutumbula ebyobulimi basobole okukyusa ebyenfuna byabwe.









