Bya Ssemakula John
Kampala
Bannamateeka b’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) bagamba nti munnakibiina kya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi, yeetegeke okubaliyirira ssente eziri mu buwumbi olw’okuggyayo omusango gwe yawaaba ng’awakanya obuwanguzi bwa Museveni mu kkooti ensukkulumu.

Kino kiddiridde Kyagulanyi okutegeeza eggulo ku Mmande nga bw’aggyeeyo omusango olw’abalamuzi okubeera ne kyekubiira mu nsonga zino.
Kyagulanyi yali yasaba Ssaabalamuzi Owiny Dollo awamu n’abalamuzi ba kkooti eno abalala babiri okuva mu musango gwe olw’okukolagana ne Pulezidenti Museveni. Bannamateeka ba Museveni bategeezezza nti etteeka liragira omuntu yenna aggyayo omusango okuliyirira b’abadde awawaabira. “Tugenda kusaba okuliyirirwa era ssente ziri mu buwumbi, era tugenda kuteekamu okusaba kwaffe ku ssente ze twagala okuliyirirwa.” Munnamateeka wa Museveni Hussein Kashillingi bw’ategeezezza.
Waliwo ebigambibwa nti bannakibiina kya NUP bali mu kasattiro nga batya nti bannamateeka ba NRM baakusaba omutitimbe gwa ssente era bano bategeke kugenda mu bantu mu nkola ey’okusonda okuva mu ba boodabooda, ab’omu butale, basobole okufuna ssente zino. Wabula bino omwogezi w’ekibiina kya NUP, Joel Ssenyonyi, agambye nti tebannalowooza ku ntegeka za kusonda ssente nga bwe bitambuzibwa.
Ssenyonyi yategeezezza nti bakooye okubatiisatiisa n’awa aba NRM amagezi okussaamu ssente ze baagala okuliyirirwa nakyo kiggwe.
Kinajjukirwa nti Kyagulanyi yakwata kyakubiri mu kalulu kano n’ebitundu 35 ku buli 100 ate nga Museveni eyakawangula yalina ebitundu 58 ku buli 100. Ekirindiriddwa kwe kulaba oba bannamateeka ba Kyagulanyi banaateekamu okusaba okuggyayo omusango ng’amateeka bwe galagira era ne ssente mmeka bannamateeka ba NRM ze bagenda okusaba okuliyirirwa olw’obudde bwabwe obwonooneddwa.