![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2019/11/Mubajje.jpg)
Bya Musasi Waffe
Bannaddini eb’egattira mu mukago gwa East African Council for Religious Leaders -Religions of Peace, beemulugunyizza ku kyebayise, okutulugunyizibwa n’okuyisibwamu amaaso, Ssabawandiisi w’okumukago ogugatta amawanga agali mu buvanjuba bwa Africa (East African Community), Ambasada Librat Mfumukeko. Abakulu bano nga bakulirwa Mufti wa Uganda, Sheikh Shaban Ramathan Mubajje baabadde bakyaddeko ku kitebe ky’omukago guno ekiri mu kibuga Arusha ekya Tanzania oluvanyuma lw’okuyitibwa Mfumukeko. Bwebaatuuse ku kitebe kino, babawadde obutebe awalindirwa abagenyi kussawa ssatu n’ekitundu wabula zaweze essaawa munaana nga tabannakolwako ekyabawalirizza okwabuka. “Ekikolwa kino kiweebuula nnyo era kiraga butali bugunjufu. Omukago guno gusuubira gutya okukolagana n’abantu nga Ssabawandiisi wago bwati bwayisa abagenyi beyeeyitidde. Abadduggavu tebeeyisa bwebati,” Mubajje bweyategeezezza. Ssabawandiisi wa Bannaddiini bano, Dr Francis Kuria yategeezezza nti bagenda kutuusa okwemulugunya kwabwe eri akulira omukago guno era nga ye mukulembeze wa Rwanda Paul Kagame wamu n’abakulembeze ba mawanga agakola omukago guno okuli Uganda, Kenya, Tanzania ne Burundi.