Bya Ssemakula John
Kampala
Minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga, Gen. Kahinda otafiire ategeezezza nti bannabyabufuzi bwe bali ekitundu ku ttemu eriri mu kitundu ky’e Masaka eryakatta abantu abasoba mu 30.
Bino Minisita abyogeredde mu kafubo kabaddemu n’ababaka abava mu bitundu bya Buganda wakati nga beetegekera okulambula ebitundu bye Masaka.
“Ebiri e Masaka mulimu bannabyabufuzi, mulimu n’abatemu naye nze mpise bannabyabufuzi beenaazeeko ekko. Njagala okutegeeza bannamasaka nti nga gavumenti tukola buli kisoboka okuzza embeera mu nteeko. Siraba muntu munnabyafuzi agenda okwagalwa abantu ng’ayita mu kubatemula.” Minisita Otafiire bw’agambye.
Minisita Otafiire abantu abasabye okwenyigiramu bakolagane ne gavumenti kuba obutebenkenvu tebuyawula mu ddiini, kibiina wadde amawanga era buli omu abwetaaga.
Wabula bino ababaka babadde nabo mu kafubo babiwakanyizza nga bagamba nti tabawadde nsonga lwaki alowooza nti bannabyabufuzi babirinamu omukono.
Omubaka wa Kalungu East, Francis Katabaazi ategeezezza nti singa nabo baba baakutwala buufu gavumenti bw’etutte, bandigambye nti gavumenti y’ebatemula olw’ensonga nti bannabuddu tebaagikombya ku kalulu.
Ate Omubaka wa Kakuuto, Geoffrey Lutaaya agamba nti Minisita Otafiire ayogeza bulagajjavu ng’ensonga ne bw’ebeera nnene agitwala nga yaakusaaga wabula n’amusaba obuteeyibaala kuba tannamanya gye kigenda kuggweera.
Ssentebe wa Kabondo ka Buganda, Muhammad Muwanga Kivumbi ategeezezza nti Minisita Otafiire bamuwadde amannya g’abantu abamu abali emabega w’ebikolwa bino abali mu bitongole bya gavumenti.
“Abaagala omuzannyo ogwo bagutwale ewalala kuba nabo balina gye bava. Bwe twagala okulwanyisa gavumenti tetukola ebyo tusimbawo omu ku ffe n’avuganya nga bwe twakola mu kalulu akawedde.” Omubaka Kivumbi bw’ategeezezza.
Ono aweze nti bagenda kukunga abantu mu bitundu byabwe basobole okulwanyise ettemu lino erimazeeko bannamasaka emirembe.