Bya Stephen Kulubasi
Lweza
Katikkiro wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga, ayambalidde bannabyabufuzi abagufudde omuze okulumba Kabaka ne Buganda n’agamba nti bano beesimira bokka obunnya mwe batagenda kuva.
Okwogera bino asinzidde mu maka ge e Lweza enkya ya leero bw’abadde ayogerako ne bannamawulire.
“Bannabyabufuzi abayisaamu Kabaka amaaso beesimira bokka obunnya. Tosobola kuyisaamu muntu maaso ng’omuntu oyo abantu bamwagala okuva mu musaayi. Olaba n’abaazaalibwa ng’amaze okutikkibwa bamwagala okufa!” Katikkiro Mayiga bw’ategeezezza.
Owek. Mayiga alaze nti ezimu ku nsonga ezaaviirako ekibiina kya NRM okukola obubi mu Buganda bwe zeekuusa ku kya Buganda okumala ebbanga ng’ebanja ebyayo wabula nga gavumenti eyaawakati tegifaako.
Okusinziira ku Katikkiro, kino kyawaliriza abantu ba Buganda okukyusaamu balabe oba embeera eneetereera.
Katikkiro Mayiga era alabudde gavumenti okukola ku kizibu ky’obwavu n’ekibbattaka ekiri mu Buganda, bw’eba eyagala okuzza emitima gy’abantu ba Buganda kuba banyigiriziddwa byonna.
“Munnabyabufuzi omutuufu alina kwebuuza ekimukyayizza okusinga okwekwasa. Ababadde balonda NRM ebbanga lyonna babadde baganda, ky’ogamba abaalonze ku luno baavudde mu Ggulu?” Katikkiro bw’abuuzizza bw’abadde ayanukula aba NRM abagamba nti Obwakabaka bwabalimirira mu kalulu.
Ono asabye abakulembeze okuteesanga n’abo be bawukana mu ndowooza okusinga okukozesa amaanyi kubanga amaanyi tegalya. Bano abalabudde nti amaanyi tegawangulangako lutalo mu nsi yonna era n’asaba beekwate ku kuteesa, okuwuliziganya n’obutabagana singa wabaawo ensonga ebalemye okukkiriziganyako.
Ono akuutidde abantu okusigala nga beerinde ekirwadde kya Ssennyiga Corona era bafube obutaggwaamu ssuubi kuba ekizibu kino kigenda kuggwa buli kimu kiddemu okutambula obulungi.