Bya Muwuluzi Yusuf
Masaka-Buddu
Abantu ba Ssaabasajja Kabaka mu ssaza ly’e Buddu basisinkanye okwefumiitiriza ku ngeri ekirwadde kya Mukenenya gye kikosezzaamu abantu naddala abaliko obulemu.
Bino byabaddewo eggulo ku lunaku lw’ensi yonna olw’ekirwadde kino era ng’ensisinkano eno yabaddemu ab’ekitongole kya MADIPHA ekiyambako abaliko obulemu naye nga mu kiseera kye kimu bawangaala n’ekirwadde kino n’okulaba bwe basobola okubulwanyisa.
Ku mukolo ogwabadde ku ssaza nga gwabaddemu ebikonge by’Obwakabaka, abakulembeze mu Masaka, bannaddiini n’abakulembeze babaliko obulemu mu kitundu kino.
Mu bubaka bwe obwamusomeddwa Ppookino Jude Muleke, Minisita wa gavumenti z’ebitundu mu Buganda, Owek.Joseph Kawuki yategeezezza nti abantu amaanyi babadde bagamalidde ku Ssennyiga Corona ne beerabira Mukenenya.
Minisita yagasseeko nti Obwakabaka busaale nnyo mu kulwanyisa obulwadde bwa Ssiriimu era n’akubiriza abantu okwekuuma. “Tusaana tutaase abaliko obulemu obutasaabaana kawuka ka Mukenenya.” Bw’atyo Owek. Kawuuki bwe yayongeddeko era ne yeebaza essaza Buddu n’ekitongole kya MADIPHA.
Ye Ppookino mu bubaka bwe yavumiridde nnyo ebikolwa eby’ekko ebyetobese mu kalulu kano naddala ebyo ebikolebwa abakuumaddembe. Wabula ono yasabye abavubuka okwewala ebikolwa eby’effujjo olwo lwe banaateekebwamu obwesige.
Ssenkulu w’ekibiina kya MADIPHA, Musisi Richard, yannyonnyodde nti ng’abaliko obulemu basanga okusoomoozebwa okuwangaala n’ekirwadde kino.
Rev. Fr. Aloysius Kalwowa nga ye yakiikiridde omusumba w’ssaza ly’e Masaka, Bishop Serverus Jjumba, ku lwa bannaddiini yasabye wabeewo okunoonyereza ku bintu ebiremesa abantu okuvaayo okwatula mu lwatu nti balina Siriimu nga n’abamu eddagala balimirira mu nkukutu.
Oluvannyuma woofiisi ya Ppookino yawaddeyo ebimu ku bikozesebwa abantu abaliko obulemu.