Bya Yusuf Muwuluzi
Buddu
Abantu ba Kabaka mu ssaza ly’e Buddu baweze okukola buli kisoboka basobole okulwanyisa ekirwadde kya Mukenenya mu kitundu kyabwe.
Bano kino baakikoze wakati ng’Obuganda bwetegekera amazaalibwa ga Kabaka age 66 nga 13/4/2021, era wano abavubuka baasomeseddwa ku kirwadde kino ku byoto ebyenjawulo abyakumiddwa okwetoloola amagombolola 29 agakola essaza Buddu. Abakugu ab’enjawulo baasomeseddwa ensonga eziviirako okusaasaana kw’ekirwadde kya Siriimu nga beesigama ku mulamwa gw’okulwanyisa Siriimu ng’abasajja be basaale.
Mu Mutuba 6 Katwe -Buddu, olunaku lw’eggulo nga 10/4/2021 bakojja ne bassenga nga bakulembeddwamu Walukagga Joseph Ssaabawaali Mutuba 6, baasomesezza ku nsonga nnyingi omuli abantu obutabeera bagunjufu nga bwe kittattanye empisa mu bantu naddala abasomyeko.
Abamu ku bavubuka abeetabye ku kyoto kino baakubaganyizza ebirowoozo ku ngeri abazadde we balina okukwatamu abaana naddala ku nkozesa y’essimu, baleme kwonooneka, nga bwekiba tekikoleddwa abaana bayingira mu bikolwa ebiviirako bo okusaasaana kwa Ssiriimu.
Ye eyakiikiridde Ppookino Jude Muleke nga ye Ssempira Levicatus atwala ebyenjigiriza mu Buddu, yakuutidde abakyali abato okwekuuma ate abakuze okuba abeesigwa oba okukozesa obupiira basobole okwewala Mukenenya.
Yo mu Mutuba 10 e Kyamuliibwa-Kalungu, abantu bangi abaasomesezza omuli n’abasawo okuva mu Medical Research Centre (MRC) wabula ng’eno abavubuka abalenzi tebajjumbidde.
Omumyuka wa Ppookino II, Painento Yiga, yasinzidde eno n’asaba abazadde obutapeeka baana kufumbirwa nakuwasa nga bamaze okusoma ate nga mu nnono za Buganda, abazadde be bayina okulabira abaana, bannaabwe. Era ng’abazadde bwe batayambako baana mu nsonga zino, abaana bajja kutomera.