Bya Paul Kato
Nkoni – Buddu
Omwami wa Ssaabasajja Kabaka atwala essaza Buddu, Ppookino Jude Muleke, asabye Bannabuddu okunnyikiza enkola ya Bulungibwansi nga batandikira mu maka gaabwe, kiyambe okukendeeza ku ndwadde eziva ku bucaafu.
Bino Ppookino yabyogeredde mu kulambula omulimu gw’okuyooyoota amakubo agatuuka ku Lubiri lw’e Nkoni mu Buddu awagenda okubeera Amatikkira ga Ssaabasajja Kabaka ag’omulundi ogwa 28 nga 31/7/2021.
Ppookino Muleke, bano abawadde amagezi batandike okwawula kasasiro avunda n’atavunda kibasobozese okukuuma obutonde bw’ensi era kinnyikize okutumbula enkola ya Bulungibwansi n’obuyonjo.
Mu ngeri y’emu, Ppookino Muleke agamba nti wadde Bulungibwansi bamukoze mu nkola ya Ssaayansi olw’ekirwadde kya corona virus, naye Bannabuddu balina okukimanya nti Empologoma yasiima Amatikkira gaayo ag’omulundi 28 gajagulizibwe mu Buddu. Noolwekyo balina okukuuma akalombolombo k’okukola Bulungibwansi.
Okulambula kuno, Ppookino yawerekeddwako abaami ba Kabaka mu muluka gw’e Nkoni okuli; Bukenya Haruna, Muwonge Kizito, Bukenya Ben n’abalala era bano bagamba nti baagala omukolo gutuuke nga buli kimu kiri mu mbeera eweesa Nnyinimu ekitiibwa.