Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Katikkiro wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga atikkudde bannabuddu Oluwalo olusobye mu bukadde 37 mu nteekateeka ya Luwalo Lwaffe era n’abeebaza olw’okujjumbira enteekateeka z’Obwakabaka.
Owek. Mayiga abaami abasabye okulambika obulungi abantu ku nsonga enkulu eza Buganda era banyweze obumu si mu nteekateeka nga Oluwalo, Ettoffaali oba Emmwanyi Terimba, naye buli kaseera kuba kibeera kizibu okuggusa ensonga za Buganda Ssemasonga eziwera ettaano awatali kubeera bumu.
“Tulina abantu bangi mu nsi eno abatayagala bantu ba Buganda beegatte kubanga bwe twegatta tuba n’amaanyi, twogeza eddoboozi limu, bwetwetemamu kyanguwa okutusaasaanya n’okutubunya emiwabo. Mu mbeera eyo okuzza Buganda ku ntikko kijja kutubeerera kizibu.” Owek. Mayiga bw’alambuludde.
Katikkiro Mayiga, abaami ba Kabaka abawadde entanda okumanya nti singa babeera beesigwa, n’abantu be batwala bajja kusobola okubeesiga obulungi olwo emirimu gitambule bulungi ne Buganda edde ku ntikko.
Ono abakubirizza okugula emigabo mu SACCO y’Obwakabaka eya Ssuubi lyo Zambogo kuba bingi bye basobola okutuukako singa bagula emigabo kuba okugenda ku ntikko si ng’ombo, wabula kukola kuba bajja kubaako bye basobola okutuukako.
Abasabye okuwuliriza be batwala mu mbeera yonna kuba enteekateeka zonna eza Buganda zitunuulidde bantu na mutindo gwa buweereza nga kiba kizibu okuzitwala mu maaso awatali kukolagana bulungi na kuwang’ana kitiibwa.