Bya URN
Akakiiko ka palamenti akakola ku byensimbi kakkirizza gavumenti okuwa bbanka ya Uganda enkulu obuwumbi 481 mu mbalirira y’omwaka 2020/2021. Ng’ayanjula alipoota y’akakiiko ssentebe Henry Musaasizi yategeezezza nti etteeka erifuga Banka ya Uganda enkulu likkiriza gavumenti okugisigamu ensimbi singa eba ezeetaaga.
Kyokka Musaasizi yategeezezza nti sente ezigenda okussibwa mu Bank of Uganda teziganda kuva mu nsawo eyamu omussibwa ssente za gavumenti, giyite Consolidated Fund wabula okuva mu migabo gavumenti gyetunda.
Yabikkudde ekyama nti Bank of Uganda essente zaayo bulijjo eziggya ku magoba g’efuna okuva ku ssente zaayo z’etereka mumawanga amalala wabula nga zino zaakendeera mumbalirira y’omwaka 2007/2008 oluvanyuma lwakatyabaga k’ebyenfuna akaakosa ensi yonna.
“Okusobola okufuna ku magoba egeegasa, wamu n’okukendeeza ku bulabe bw’okufiirwa, bbanka essente zaayo esinga zissa mu Amerika okusinga Bulaaya oba Japan,” Musaasizi bweyagambye.
Banka
ya Uganda enkulu y’evunanyizibwa mukukuba essente, okulaba nga eby’enfuna
tebiyuuga, wamu n’okulaba nga eby’enfuna by’eggwanga bikula.