Bya Musasi waffe
Abavuzi b’ebiroole abalala bana basangiddwamu ekirwadde kya senyiga omukabwe owa coronavirus.
Kino kitegeeza nti Uganda kati ewezezza abantu 126 abaakazuulwamu obulwadde buno.
Abantu 1,478 bebaakebeddwa nga bonna bavuzi babimotoka ebireeta n’okutwala eby’amaguzi mu Uganda n’amawanga agatuliranye.
Kubana, ababiri Bannayuganda, omu Munnakenya eyayingidde Uganda ng’ayitira ku nsalo ne South Sudan Elegu ate omulala mu Tanzania ng’ono yayise Mutukula okuyingira Uganda.
Mu birala, ku Bannayuganda 233 abaakebeddwa bonna baasangiddwa nga tewali alina coronavirus.