Bya Musasi Waffe
Ssembabule
Kkooti enkulu e Masaka esindise taata agambibwa okusobya ku muwala we mu kkomera amaleyo emyaka 40.

Kkooti eno ng’ekuliddwamu omulamuzi Victoria Nakintu Katamba yategeezeddwa nti mu mwezi gwa Novemba mu mwaka gwa 2015, Benon Kafeero, omutuuze w’e Mateete mu Mateete ttawuni kkanso mu Ssembabule, yakkira muwala we ow’emyaka 8 n’amusobyako.
Oludda oluwaabi nga lukuliddwa Javob Nahurira, lw’ategeezezza kkooti nti Kafeero yasuula obuvunaanyizibwa bwe nga taata n’asalawo okusobya ku muwala gw’alina okukuuma.
Munnamateeka w’omuwawaabirwa, Regina Babukiika, yasabye kkooti Kafeero emukendeereze ku kibonerezo ng’etoolako ebbanga lya myaka etaano n’emyezi etaano gy’amaze ku alimanda.
Oluvannyuma Omulamuzi Nakintu yakkaanyizza n’oludda oluwaabi ku kya Kafeero okusuulira obuvunaanyizibwa bwe nga taata, wabula n’ategeeza nti ku myaka 40 egimusibiddwa, kkooti ekkiriza okusalako ebbanga ly’amaze ku alimanda.