
Bya Ssemakula John
Kyanja – Kyaddondo
Poliisi etandise ku muyiggo gwa bamukwatammundu abalumbye poliisi ya Kensington e Kyanja mu Wakiso ku makya ga Mmande nebatandika okuwayisaganya amasasi nababadde bakuuma poliisi eno.
Kigambibwa nti bano basanze akaseera akazibu era wabaddewo okubwatuka kw’ amasasi okumalira ddala akaseera n’abantu bano ababadde batambulira ku boodabooda.
Abapoliisi abasangiddwa mukifo kino bagamba nti oluvannyuma lw’okusinga abalumbaganyi amaanyi bakozesezza akakubo ka ppanya nebaggwa ku luguudo olunene era wano tebazeemu kulabika.
Poliisi eno eyalumbiddwa eri ku kkubo okuliraana essundiro ly’ amafuta erya Prime Petrol Station, mmita nga 200 okuva mu ttawuni ye Kyanja era eriraanye ebbaala ya Komamboga ayalumbibwa aba ADF omwaka oguwedde.
“Abasajja baffe babasanze bali bulindaala. Abalumbye babadde bakuba amasasi nabo nebabaddiza era ekirungi kiri nti tewali yakoseddwa,” Omu ku bapoliisi abakulu bw’agambye.
Eno ye poliisi ey’okusatu olumbibwa okuva abatemu lwebalumba poliisi ye Busiika nebatta abapoliisi 2 era nebagezaako n’okwokya poliisi eno. Waliwo nabalowoozebwa okubeera abatujju abalumba poliisi ye Ntoroko nebawamba abasirikale b’oku mazzi.
Okusinziira ku poliisi abalumbye poliisi eno tebamanyiddwa wadde ekigendererwa kyabwe wabula okunoonyereza ku nsonga eno kutandikiddewo.
Wetukoledde egguliro lino ng’ Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga tanafunika okubaako kyayogera ku nsonga eno.
Ebirala ku ggulire lino tubireeta.









