Musasi waffe
Ba minisita ba Kabaka okuli ow’amawulire Noah Kiyimba wamu n’oweby’obuwangwa David Male Kyewalabye basabye abantu ba Buganda babe bakkakkamu oluvanyuma lw’okukwatibwa k’womuliro emu ku nnyumba z’abalongo mu Masiro e Kasubi.
Bwebadde boogerako eri Bannamawulire e Kasubi, Oweek. Noah Kiyimba agambye nti Obuganda bufunye ekikaangabwa ekyamanyi, naye abantu tebalina kweraliikirira.
“Njagala okugumya Obuganda nti Abalongo omuliro tegubatuseeko olw’esonga nti essubi erivudde waggulu ng’omuliro gwaka libabuutikidde bwatyo Mukama naatuyamba nebasobola okutaasibwa,” Kiyimba bwagambye.
Ayongeddeko nti yo ennyumba enkulu Muzibwazaalampanga omugalamidde ba Ssekabaka abana; Muteesa I, Daniel Mwanga, Daudi Chwa ne Edward Muteesa II, yo eri bulungi era omulimu gw’okugiddaabiriza gugenda bukwakku.
Muzibwazaalampanga yakwata omuliro nabuli kati ogutannamanyibwako kwegwava mu 2010 era ng’Obwakabaka bugezaako okugizzaawo ng’eri ku mutindo ogwa waggulu.
Ku lulwe, Oweek. Kyewalabye ategeezezza nti bakolaganira wamu ne poliisi okulaba nga banoonyereza kiki ekiviiriddeko omuliro guno.
“Neebaza aba poliisi olw’obwangu obukoleddwa okuzikiza omuliro guno. Tujja kulondoola okuzuula kiki ekibaddewo,” Kyewalabye bwategeezezza.
Ennyumba eno ebadde yawummuzzibwamu abalongo nga bwebazimba ennyumba endala mwebagenda okubeera olubeerera.
“Tusaba abantu babeere bakkakkamu era tebategana kujja wano batuleke tunoonyereze kiki ekibaddewo,” Kyewalabye bwagambye.