Bya Noah Kintu
Ssembabule
Wabaddewo akasattiro e Mawogola, poliisi bw’ekutte abakolera ku ttaka lya Ssaabasajja Kabaka ku biragiro by’omusenze akaayanira ettaka lino.
Abakwatiddwa bawerako okuli; Kaweesi Charles, Mulabyangoma Gideon n’abalala . Bano babadde bakozesa ettaka lino okulimirako kasooli, ebijjanjaalo n’ebintu ebirala era nga abakutte abalanze gwa kusalimbira ku ttaka lye, kye bagamba nti si kituufu kuba ettaka lya Kabaka.
Abatuuze balumiriza omusenze Benon Bulora, omutuuze w’e Mijwala Ssaabawaali, okusenga ku ttaka lino eriwerako yiika 49 naye nga kati alifudde lirye. Kyokka nga kimanyiddwa nti lya Bwakabaka bwa Buganda.
“Twatandika mu Gwamwenda okulimira ku ttaka lino era lyatuweebwa Muteesa n’olukiiko lwe, wabula twabadde tuli mu nnimiro tukungula mmere yaffe, ne bajja ne batukwata era bwe twatuusiddwa ku poliisi ate omusango gwe baatuvunaanye si gwa ttaka, wabula nti twamenye enju, okubba ente n’ebirala, ate ebintu ebitaali ku ttaka eryo.” Omu ku batuuze Charles Kaweesi bwe yannyonnyodde.
Owessaza Muteesa Sserwadda Muhammad, yagumizza abatuuze okugenda mu maaso n’emirimu gyabwe ku ttaka lino kuba balina ebiwandiiko byonna era biraga nti ettaka lya Bwakabaka era ensonga Mmengo egimanyi era egirondoola.
Ono yalabudde poliisi ku by’okumala gakwata bantu era n’agattako nga bw’ali mu kwogerezeganya nayo okulaba ng’abakwatiddwa bayimbulwa kuba tebalina musango.
Omukiise w’essaza lya Mawogola mu lukiiko lwa Buganda, Hajjati Fatuma Namugula, agambye nti bafungizza okulwana okulaba ng’ettaka lino teritwalibwa. Agumizza abatuuze ku bwannannyini bw’ettaka lino nti lya Bwakabaka. Ate ye Wamala Kutawanya nga naye mukiise wa Mawokota yategeezezza nti, “Abakola ebikolwa by’okubba ettaka lyaffe, bakikozesa kanyoomo na kutumalamu maanyi. Era tusaba abakola ebikolwa ebyo beddeko kuba ffe tetugenda kutuula mpaka ensonga nga ziggweeredde mu mateeka kuba ebintu biri mu buwandike.”
Bwe tutuukiridde akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi e Ssembabule abamu ku bakwate gye bakuumirwa, Andrew Ainembabazi, agaanye okubaako ky’ayogera.