
Bya Ssemakula John
Buweekula
Omwami w’essaza lya Buweekula, Luweekula Ssempijja Andrew Mukasa atongozza olukiiko olugenda okuwabula obukulembeze bw’essaza lino okusobola okunnyikiza entambuza y’emirimu n’okulakuulakanya abantu ba Beene n’okunyweza obumu.
Olukiiko luno luteereddwako abantu abakulu mu ssaza lino era nga lutuumiddwa Buweekula Bumu.
Olukiiko luno lukubirizibwa Mwami Kayizzi Leonald nga amyukibwa Rev Canon Keefa Obadiya Ddibya. Abalala ye Mw. Kyambadde Ponsiano, Hajji Ramathan Zzizinga, Mw Musisi Levicato, Mw Maluunya David, Oweek Nantaayi Immaculate Kafeero.
Bw’abadde atongoza olukiiko luno Luweekula Ssempijja Andrew Mukasa asabye abakulu bano okukola kyonna ekisoboka bagatte abantu ba Nnyinimu era bayambe okulung’amya abakulembeze b’essaza ku ntambuza y’emirimu n’okulaakulanya abantu ba Beene.
Ono era ategeezezza nti Olukiiko luno lwakutandikirawo emirimu kiyambe okwanguya ku ddimu ly’okulaakulanya essaza lino.
Alondeddwa okulukuliramu, Omw. Kayizzi Leonald yeeyamye kulwa banne okukola buli ekisoboka bayambe okwongera okugatta abantu bannyinimu wamu n’okulaakulanya abantu b’Omutanda.









