Bya Musasi waffe
Kampala
Ebibiina by’obwannakyewa ebiruubirira okunnyikiza demokulaasiya mu Uganda, birabudde abajaasi ba UPDF ne Poliisi, okukomya okweyingiza mu by’obufuzi wamu n’okufulumya ebigambo ebisobola okutabangula emirembe naddala mu kaseera kano ak’okulonda.
Ssenkulu w’ekitongole kya Foundation for Human Rights Initiative (FHRI), Dr. Livingstone Ssewanyana, yategeezezza omukutu gwa URN mu mboozi eyakafubo nti, ebigambo bya bannamagye ebigamba nti, “Tetusobola kuwaayo buyinza eri omuntu atali munnamagye,” tebisaanidde mu kaseera kano ak’okulonda.
Kino kiddiridde omuduumizi w’enkambi y’amagye e Kasajjagirwa mu Masaka, Brig. Deus Sande, okusinziira ku mukolo ogwali gutegekeddwa bannakibiina kya NRM okusiima emirimu gy’ amajje nategeeza nti nga amajje tebasobola kuwaayo buyinza eri omuntu atali munnamagye.
Mu ngeri y’emu ne Nnampala wa gavumenti, Ruth Nankabirwa, yalabikidde ku katambi ng’agamba abantu b’e Kiboga nga Pulezidenti Museveni bw’atasobola kuwaayo buyinza kulekawo mafuta ge.
Bano Dr. Ssewanyana abalabudde nti balina okumanya nti obuyinza bw’abantu ate nga be balonzi era nga singa basalawo ne balonda omuntu omulala yenna, amagye galina kukola kimu kya kugondera biragiro bye.
Omukwanaganya w’ekitongole ekirondoola ensonga z’okulonda ‘Citizens Coalition on Electoral Democracy’ -CCEDU, Charity Ahimbisibwe, yannyonnyodde nti Minisita asobola okusonyiyibwa ku bigambo ‘Tetusobola kuwaayo buyinza,’ naye si baduumizi b’amagye abaalayira okuweereza bannayuganda.
Ahimbisibwe yagasseeko nti munnamagye oba omupoliisi eyagoera ebigambo ebiweebuula enteekateeka y’okulonda, agezaako kukuma mu bantu muliro era n’asaba bano bavunaanibwe mu bwangu, abalala babalabireko.
Omutunuulizi w’ensonga z’ebyokwerinda, Fred Egesa, agamba nti ebigambo bino bigenderere ng’ababyogera bagezaako kumalamu bavuganya gavumenti maanyi.
Ono alabudde nti singa abantu banaggwaamu essuubi ly’okukozesa akalulu okukyusa obuyinza, bayinza okwagala okukozesa amakubo amalala.