
Bya Musasi Waffe
Abatuuze mu ggombolola y’e Kamonkoli ne Mugiti mu disitulikiti y’e Budaka , batiisizatiisiza okutega abapoliisi obutwa mu by’okulya singa tebakomya kubaliira byakulya byabwe buli lwe bagenda gye bakolera okukwasisa ebiragiro bya kafyu.
Bano bagamba nti okuva Pulezidenti Museveni lwe yalangirira omuggalo ogw’ennaku 42 era n’akendeeza ne ku budde bwa kafyu okuva ku ssaawa 3 okudda ku ssaawa emu, bafunye ekizibu n’abapoliisi abateeka ebiragiro bino mu nkola.
Abatuuze balumiriza nti abapoliisi abasindikibwa babanywera waragi gwe basanga mu maduuka wamu n’okulya capati zaabwe ze basanga ku midaala oluvannyuma lw’okubafubutula era kati batandise okulowooza ku ky’okubatega obutwa kuba bakooye okubafiiriza.
Bino baabiyisizza mu amyuka sipiika w’eggombolola, Mohamad Mboizi era ono yabitegeezezza abakulu abatuula ku kakiiko ka disitulikiti n’eggombolola akalwanyisa ekirwadde kino.
Kinajjukirwa nti ku Mmande RDC wa disitulikiti y’e Budaka, Tom Chesol, yalonze abantu 20 n’abasindika mu ggombolola ez’enjawulo okuzuula engeri ebiragiro bya Ssenyiga Corona gye bikwatiddwamu era buli ttiimu n’agisaba ekole alipoota ku by’ezudde.
Bwe baabadde banjula bye baazudde, bano RDC baamutegeezezza nga abapoliisi bwe bali ku mugano nga baggya ssente mu bantu nga beekwese mu kukwasisa ebiragiro bya Corona.
Abapoliisi abatangira abantu okusala mu disitulikiti ez’enjawulo, baggya ssente ku balwadde, abatambuza ebigere wamu n’abalimi abagenda mu nnimiro kyokka mu bwebuziba abapoliisi ssente bazitwala ku mpaka era ne batiisatiisa abantu obutagezaako kuloopa ku poliisi.
Kyategeerekese nti mu ggombolola y’e Nansanga, abapoliisi baamenye ne bayingira mu nnyumba ne babba ebidomola bya waragi emisana ttuku era oluvannyuma lwa nnyini byo okubatiisatiisa nga bw’agenda okubaloopa basazeewo babizze.
Abatuuze bagamba nti ensonga zino baziroopye mu bakulu okuli; RDC, RPC, DPC, n’abakungu abalala naye ate embeera eyongera kutabuka.
Bwe yabadde ayanukula ku bino, akulira poliisi y’e Budaka, ASP Edison Muvunye, yakkirizza ng’abamu ku batuuze bwe baabatwalidde emisango gino naye nti bano tebalina bujulizi bumala okusobola okwongerayo ensonga zino.
RDC abatuuze yabalabudde obutatwalira mateeka mu ngalo era n’alabula n’okusiba abapoliisi singa banaalemwa okukola emirimu gyabwe n’obukugu.









