
Bya Betty Namawanda
Masaka – Buddu
Abantu ab’enjawulo mu kibuga ky’e Masaka batabukidde gavumenti olwa basajja baayo okutulugunya bannamawulire ate abalala ne battibwa ekibalemesezza okutuusa empeereza ennungi ku bantu.
Bano babadde beetabye ku mukolo gw’okwefumiitiriza ku lunaku lw’eddembe lya bannamawulire olw’ensi yonna, ku mukolo ogwategekeddwa bannamawulire abakolera mu bbendobendo ly’e Masaka ku Laston Business Centre.
Omukolo gwatandise n’ekitambiro kya mmisa ekyakulembeddwa Rev. Fr. Richard Mugisha ow’ekigo ky’e Bisanje era ono yennyamidde olw’ebikolwa by’okutulugunya bannamawulire ebisusse, abamu ne batuuka okwetamwa omulimu.
“Nga mukola omulimu gwammwe nsaba bannamawulire mulekerawo okulaga kyekubiira kubanga bino bye biviirako okulyamu bannammwe enkwe nga kino kye kireetedde bannammwe okutulugunyizibwa, ekintu ekikyamu.” Fr. Mugisha bw’agambye.
Mugisha alaze okutya ku ngeri gavumenti gy’ereeseemu emisolo egitalina kye giyamba bannayuganda, n’asaba ababaka ba Palamenti okulaba nga bataasa ku bannayuganda emisolo gino. Ono era agasseeko nti kati abantu batambulira mu kweraliikirira eri bannaabwe nga batya okubawa obutwa.
Amyuka omukulembeze w’ekibiina kya NUP mu Buganda era nga ye mubaka wa Palamenti owa Nyendo-Mukungwe omulonde, Mathias Mpuuga nga y’abadde omugenyi omukulu ku mukolo guno, yeebazizza bannamawulire okuweereza eggwanga kyokka n’abasaba okwongera okusoma, kibasobozese okubeera abamanyi mu nsi mwe bakolera.
Omubaka Mpuuga asinzidde wano n’ategeeza nti agenda kufuba okulaba nga balwanirira eddembe lya bannamawulire mu ggwanga okusobola okuweesa omulimu gwabwe ekitiibwa.
Omukolo guno gwetabiddwako ababaka abalala okuli; Francis Katabaazi ne Ronald Evans Kanyike awamu ne bannamawulire abakolera mu kitundu kino.









