Bya Musasi waffe
Kampala
Ebitongole by’ebyokwerinda nga bigenda mu maaso n’okuwenja abantu abaalumbye Gen. Katumba Wamala ne bamaliriza nga batemudde muwala we ne ddereeva we, waliwo abantu abakwatiddwa bayambeko poliisi mu kunoonyereza kw’eriko.
Okusinziira ku poliisi, olunaku lwa Ssande we lwazibidde nga be bakwatte baweze musanvu era nga bano bakuumirwa ku poliisi ez’enjawulo mu Kampala.
Nga 01 June, 2021 ab’ebyokwerinda baakoze ebikwekweto ne bayoola abasajja bana era nga bano bakuumibwa ku Special Investigations Unit (SIU) e Kireka. Ensonda zaffe ku kitebe kino e Kireka zaategeezezza nti bano poliisi yabalondodde oluvannyuma lw’okufuna obujulizi bw’essimu ze baakuba ne bakwatibwa era baatandise dda okubuuzibwa akana n’akataano ku nsonga z’obutemu obwakolebwa ku olwo.
Kigambibwa nti omu ku bakwate yagezaako okukubira Gen. Katumba essimu oluvannyuma lw’obulumbaganyi buno ng’agezaako okukakasa oba akyali mulamu. Waliwo n’abavubuka abasoma abawera 4, poliisi be yakutte mu bitundu by’e Bukoto nga kigambibwa nti bano baali mu kifo kino nga Gen. Katumba alumbibwa.
“Ku Lwokubiri kizibwe wange Musobozi Charles owa S.3 ne mikwano gye basatu baakwatiddwa ku nsonga z’okunoonyereza ku bulumbaganyi ku Gen. Katumba.” Omu ku booluganda b’abavubuka bano, Francis Obbo bwe yagambye.
Abafamire y’abaana bano basabye poliisi eyimbule abantu baabwe kubanga tewali ngeri yonna gye beenyigira mu butemu buno kuba baali batambula byabwe.