Bya Ssemakula John
Kampala
Amyuka Ssaabaduumizi wa poliisi y’eggwanga, Maj. Gen Paul Lokech, alangiridde nga bwe bakutte abantu abalala babiri abagambibwa nti beetaba buteerevu mu bulumbaganyi obwakolebwa ku Gen. Katumba Wamala ku ntandikwa y’omwezi gwa June, 2021.
Lokech bino abitegeezezza bannamawulire ku Lwokutaano mu Kampala nti mu kiro ky’Olwokuna nga basinziira ku bujulizi bwe baafunye ku bantu be baasoose okukwata, bazzeemu ne bakola ebikwekweto mu Kampala n’emirirwano.
Okusinziira ku Gen. Lokech, baliko abavubuka be bakutte okuli; Juma Said asiika capati ne Juma Sserwadda nga bonna batuuze b’e Namuwongo mu Kampala.
“Ng’omu ku basajja bano tannattibwa, yategeezezza ttiimu yaffe nti emmundu agirina bamuyita Mukwasi. Oluvannyuma lw’okukwata Mukwasi yatugambye nti Amin era amanyiddwa nga Mustapha Ramathan Kawawa yagimuggyeeko n’agitwala ate Amin n’atugamba nti Juma Sserwadda y’agirina.” Lokech bw’ategeezezza bannamawulire.
Lokech agamba nti bano baatutte ab’ebyokwerinda e Kagoma n’e Nansana nga banoonya okuzuula awatuufu awali emmundu zino. Oluvannyuma Amin yabannyonnyodde nti emmundu agirina ye musiisi wa capati, ekyawalirizza ab’ebyokwerinda okulumba amaka g’e Namuwongo..
“Bwe twatuuse mu maka ge mu Kanyogoga zooni mu Bukasa e Namuwongo ne tumubuuza. Juma Said yategeezezza nti eri mu kiyumba kya nkoko. Eno twazuddeyo emmundu 2 ez’ekika kya SMG ne basitoola emu nga zizingiddwa mu bigoye ne zikwekebwa mu ttaka.” Lokech bw’agasseeko.
Ono agamba nti wakati nga baaza ennyumba ya Juma Said, Amin yagezezzaako okutoloka ekyawalirizza okumukuba amasasi agaamuttiddewo.
Ebikwata ku mmundu zino
Gen. Lokech yategeezezza bannamawulire nti mu maka ga Juma Said omutunzi wa capati e Namuwongo, baazuddeyo emmundu 2 era bwe baazikebedde ne bakizuula nga zezaakozesebwa okutta AIGP Andrew Felix Kaweesi mu 2016 ne Maj. Muhammad Kigundu mu 2017.
“Abakugu baffe era bazudde obujulizi obw’omugaso ennyo mu musango guno. Omuvuzi wa booda alabikira mu butambi ng’ayambadde ekikooti kya kacungwa ye Juma Said. Ekikooti kino ne Helemeeti twabisanzeeyo waggulu mu siiringi era ne kikakasa nti n’omuvuzi wa boodabooda omulala gwe tubadde tunoonya naye tumuzudde.” Lokech bw’akakasizza.
Ono agamba nti abakwate ba kibiina ky’abayeekera ekya Allied Democratic Force (ADF) naye n’akakasa nti beetegefu okulaba nga bano babamalawo mu bwangu.