Bya Musasi Waffe
Kampala
Poliisi ku Palamenti ekutte omusajja agambibwa okufera abamu ku bakozi ba gavumenti nga abasuubizza okubayamba abaggye ku lukalala lw’abali b’enguzi abagenda okunoonyerezebwako akakiiko akavunaanyizibwa ku bitongole bya gavumenti aka ‘Committee on Public Accounts, Commissions, Statutory Authorities, and State Enterprises (COSASE).’
Omukwate ye Francis Malinga era nga kigambibwa nti yatuukiridde omu ku bakozi ba Palamenti namulaga ebbaluwa eyabaddeko omukono gwa Ssentebe wa COSASE.
Malinga yasobodde okumatiza omukozi ono nga bwagenda okuggya erinnya lye ku lukalala oluvannyuma lw’okubeera nti aliko vvulugu w’okulya enguzi gweyenyigiramu era namusaba ssente obukadde 20 okuggya erinnya lye ku lukalala luno.
Malinga yasobodde okumatiza omukozi ono nga bwali omukozi wa Palamenti era namukkirizisa ssente azimusanze ku kantiini ya Palamenti ku lunaku lwe lumu.
Oluvannyuma omukungu wa gavumenti ono yatemezza ku bakulira Palamenti abatuukiridde poliisi nebalaba engeri y’okukwatamu Malinga. Ono bamusanze yalinze dda ku kantiini basobole okumuwa akake era wano webamukwatidde.
Mu bbaluwa eyavudde mu woofiisi ya Kkiraaka wa Palamenti, Waiswa Henry Yoweri yawadde ababaka amagezi nga bakolagana n’abantu be batamanyi naddala bebasanze mu Palamenti.
“Mubeere bulindaala naddala nga mukolagana n’abantu abatali bakozi ba Palamenti. Abakozi ba Palamenti tebalina buyinza kusangula linnya lya muntu ku lukalala lwonna naddala nga wali ensonga eri mu maaso g’akakiiko konna,” Ebbaluwa bwe yasomye.