![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2021/10/cscdcd-300x185.png)
Bya Ssemakula John
Kampala
Poliisi ekutte aba boodabooda 14 abagambibwa okwetaba mu kutemula Aziz Bashir ow’emyaka 40 eyali ddereeva w’ekibiina ky’amawanga amagatte ekya United Nations (UN).
Bashir yagobebwa aba boodabooda era n’akubibwa mu masang’anzira e Mmengo ng’olinnyalinnya okudda e Nateete okutuusa lwe yafa nga bamuvunaana okutomera munnaabwe.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga akakasizza nga bwe beekennenyezza obutambi ne kkamera za CCTV ne bazuula bano 14 okubeera n’akakwate ku ttemu lino eryakolebwa nga October 17, 2021.
Abakwate kuliko; Kanywasi Dan, Mutebi Martin, Talemwa Asafu, Wasswa Samuel, Muto Richard, Wajabu Jackson, Kasolo Asuman, Nsubuga Ivan, Ssebuggwawo Jimmy, Balilonda Emmanuel, Lugango Julius, Miyingo Joseph, Wejjuli Hillary ne Ssentongo Henry.
Okusinziira ku Enanga kati bano bagenda kuvunaanibwa omusango gw’obutemu, okwonoona ebintu awamu n’okubba ebintu ku mmotoka ya Bashir.
“Tukyakola kaweefube okukwata abalala omuli n’owa boodabooda eyakolobola emmotoka y’omugenzi. Abo abaamugoba ne bamukwata awamu nabo abamukuba amayinja okutuuka lwe yafa.” Enanga bwe yannyonnyodde.
Enanga agamba nti be baakutte be bagenda okukola ng’ekyokulabirako eri aba boodabooda abalala abeenyigira mu kutwalira amateeka mu ngalo era n’asaba aba boodabooda okweddako.
Ku Ssande eyaggwa, kigambibwa nti Bashir omutuuze w’e Mmengo yeenyigira mu kabenje emmotoka ye ey’ekika kya Toyata Allex n’etaagulwa omuvuzi wa boodabooda