Bya Ssemakula John
Kampala
Poliisi e Nakaseke ekutte abantu musanvu abavunaanyizibwa ku by’enkulaakulana mu kitundu kino ku bigambibwa nti, basabye abantu enguzi okubawandiisa mu nteekateeka y’Emyooga eruubirirwa okuggya abantu mu bwavu.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/11/IMG_4406-750x500-1.jpg)
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Savannah, Isa Ssemwogerere, ategeezezza nti abakwate kuliko ow’eggombolola y’e Ngoma ttawuni Kkanso, Wakyato, Kinoni, Kinyogoga, Nakaseke, Kito ne Kikamulo era nga bano okukwatibwa poliisi yasoose kutemezebwako omu ku bantu ababadde basabiddwa ssente.
“Abakwate basabye emitwalo 5 ku buli muntu okusobola okubawandiisa mu nteekateeka y’Emyooga. Twakutteko musanvu era nga tulina omulala gwe tukyanoonya,” Ssemwogerere bw’agambye.
Okusinziira ku Ssemwogerere bano babagguddeko emisango gw’okulya enguzi era nga bagenda kwongerwako emisango gy’okukozesa obubi woofiisi zaabwe.
Enteekateeka y’Emyooga egenderera okuyamba abantu naddala banneekolera gyange nga mu bano mulimu; abavuzi ba boodabooda, ddereeva ba takisi, aba wooteeri, abookya ebyuma, abatunda mu butale, abavubuka, abakyala, abantu abaliko obulemu, bannazirwanako, abasomesa awamu n’abavubi.
Mu kaweefube ono buli SACCO egenda kufuna obukadde 30 ng’ezentandikwa, wabula abasomesa n’ebibiina bya bakulembeze abalala bajja kufuna wakati w’obukadde 50 ne 60.
Kinajjukirwa nti Minisita omubeezi ow’ebyenfuna, Haruna Kyeyune Kasolo, yalabula ng’okwewandiisa mu nteekateeka eno bwe kuli okwobwereere era n’alabula abavunaanyizibwa ku by’enkulaakulana mu byalo obutajja ku bantu ssente.
Kasolo era yalabula n’abafunye ssente zino okukimanya nti zirina okusasulwa era nga singa zinaabalemerera bajja kusibwa. Ono yagattako nga bwe baleese Emyooga oluvannyuma lw’okulaba ng’enteekateeka ezaasooka zonna bwe zaalemwa okubbulula abantu mu bwavu.