Bya Ssemakula John
Kampala
Ab’akakiiko akalwanyisa obulyi bw’enguzi mu maka g’obwapulezidenti, bakutte abantu 4 mu woofiisi ya Ssaabaminisita olw’okugulira abantu b’e Kasese ebintu ebitali ku mutindo bwe baali babatwalidde obuyambi.
Okusinziira ku Col. Edith Nakalema abakwatiddwa be bamu ku bantu 9 abanoonyerezebwako oluvannyuma lwa Ssaabaminisita Robinah Nabbanja okutegeeza nti ebintu ebyagulwa okuyamba ku bantu b’e Kasese ku mataba ku buwumbi 10 omwali bulangiti n’obutimba bwensiri byali tebituukana na mutindo.
Ono agamba nti abakwate kuliko Godfrey Kayima, omubazi w’ebitabo, Henry Agaba Tumwine, omubazi w’ebitabo Rose Nakabogo,akolanga kamisona w’ebigwa tebiraze ne Esther Odongo, akulira okugula ebintu.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yategeezezza nti okunoonyereza ku nsonga za bano kugenda mu maaso okuzuula bwe bagula ebintu ebitali bya mutindo ku buwanana bw’ensimbi.
Kino kiddiridde Ssaabaminisita Nabbanja okuvaayo n’agaana okugabira abantu obuyambi okuva mu woofiisi ya Ssaabaminisita ng’agamba nti byali bibi nnyo.
Mu bino kuliko; obuwunga obuwera kkiro 40,000, kkiro emitwalo 2 ez’ebijanjaalo, kkiro 2,000 eza ssukaali, amatundubaali 2,000, ebidomola 1,350, ebbaafu 1,000, katoni za ssabbuuni 100, n’obutimba bw’ensiri 1,000, bulangiti 100 awamu n’emikeeka 100.
“Kasese si kasasiro, bino bulangiti n’obutimba mbigaanye kuba si bya mutindo. Ebyabigula alina okuleeta ebisingako kuba bino byebivaako okwonoona ekifaananyi kya gavumenti.” Nabbanja bwe yagamba abatuuze omwezi oguwedde.
Nabbanja yalaga nti obutimba bwali butono nnyo ne bulangiti era nga tezisobola kukozesebwa bantu.
Kino kiddiridde abantu abawera 4 mu woofiisi ya Ssaabaminisita omwaka oguwedde ku bigambibwa nti beeyingira mu butali bwerufu mu nsimbi za COVID-19.