Bya Ssemakula John
Kampala
Bannayuganda mu bitundu ebyenjawulo basabiddwa okwettanira okumanya ensonga ya Federo era bakimanye nti enkola eno teganyula kitundu kya Buganda wabula n’ebitundu ebirala ebikola Uganda.
Okukunga kuno kukoleddwa aboogezi ab’enjawulo ku mukolo gw’okutongoza ekitabo ekikwata ku Federo, ekituumiddwa Federalisim for a New Uganda, ekitongozeddwa Omubaka Allan Mayanja Ssebunnya.
“Federo ayogerwako mu kitabo kino ya Uganda yonna era ezingiramu ebitundu 13 okuli; Bunyoro, Buganda, Busoga, Acholi, Lango awamu n’ebirala wadde nga waliwo ebitundu ebigezaako okuteekebwawo n’ekiruubvirirwa ky’okutabangula ebitundu ebyasangibwawo.” Sserunjogi bw’agambye
Sserunjogi agamba nti Federo tekitegeeza Buganda ng’abantu bwe bakitwala kuba ekigendererwa kya kugabana buyinza wakati w’ebitundu bino awamu ne gavumenti eyaawakati.
Ono agamba nti tewali muntu yenna ayinza kugonjoola bizibu by’abantu bonna okuggyako ng’obuyinza bugabaniddwa mu ngeri y’obuvunaanyizibwa era mu bwerufu, ebitundu ne bisobola okukola ku bizibu byabyo.
Okusinziira ku Sserunjogi, singa Uganda yonna eweebwa Federo, kijja kuyamba okukendeeza ku muwendo gw’ababaka ba Palamenti abangi kuba buli kitundu kijja kuba kirina Palamenti yaakyo ng’ababaka abaawamu tebasobola kusukka 200.
Omuwandiisi Sserunjogi agamba nti disitulikiti ez’enjawulo zikung’aanya ssente nnyingi kyokka ate ne zizitwala mu gavumenti ezigabanyizeeko era nga n’ensonga ya disitulikiti ennyingi erina okutunulwamu kuba abantu banoonya buweereza so si bungi bwa disitulikiti.
Ono ayagala ebitundu byonna okuli; Busoga, Acholi, Bugisu ne Bunyoro, okusoosowaza ensonga ya Federo kuba y’egenda okuyamba ebitundu byabwe mu bwenkanya, kiyambe okuyimusa embeera z’abantu baabyo.
Sserunjogi ategeezezza nti Uganda erimu amawanga mangi nga kijja kwanguya okukolera awamu n’okutwala eggwanga mu maaso.
Ate ye omubaka wa Nakaseke Central, Allan Mayanja Ssebunnya ategeezezza nti Federo erina kutandikira ku kugisomesa bantu yonna gye bali, okutegeera ensonga eno kuba singa ebitundu biweebwa obuyinza okusalawo, eggwanga lino lisobola okutambula obulungi.
“Ebitundu ebisinga biraba nga Buganda y’egenda okufunamu mu Federo naye kino kya Uganda yonna kuba n’endagaano ya 1900 yali ekirambika nti ebitundu bino ebya Uganda 13 bye byali bitambulirako ensonga. Buvunaanyizibwa bwaffe okuddayo okusomesa abantu baffe obukulu bwa Federo.” Omubaka Mayanja bw’annyonnyodde.
Kinajjukirwa nti Buganda ezze ebanja gavumenti okugiwa enkola ya Federo kigiyambeko okwekolera ku nsonga zaayo, kiyambe okutumbula embeera z’abantu mu kitundu kino.