Bya Ssemakula John
Kampala
Minisita w’Obuwangwa, Obulambuzi n’Embiri era avunaanyizibwa ku bifo ebyenkizo, Amasiro, olulimi Oluganda, okunoonyereza n’ebyokwerinda, David Kyewalabye Male, akulembeddemu abantu ba Kabaka, n’abakulembeze b’ebitundu okugogola n’okuyooyoota ennyanja ya Kabaka ng’ebimu ku bijaguzo ebikulembera okujaguza olunaku lwa Bulungibwansi ne gavumenti ez’ebitundu olwaweebwayo okujjukira ameefuga ga Buganda aga 8/10 agatuukawo buli mwaka.
“Emirimu gya Kabaka twetika myetike, buli abeerawo mu kiseera ekyo kola ekyo ekikusaanidde. Twagala okwebaza buli omu, bajjajjaffe abaasima ennyanja eno, balina bukumbi nga babuyita busimo, aye bye byali ebiseera ebyo. Kati ebiseera bino tulina okwongeramu amaanyi n’embeera ey’omulembe.” Minisita Kyewalabye bw’agambye.
Owek. Kyewalabye ategeezezza nti ekinyusi kya Bulungibwansi kitegeeza bannanyini kitundu okukolerera ensi esobole okubeera ennungi era singa empewo eri ku nnyanja ya Kabaka ebeera ennungi, abasooka okugiganyulwamu be bantu b’ekitundu kino.
Ono asabye abantu okukuuma obuyonjo n’obutonde bw’ensi eno era n’akiggumiza nti olunaku luno lwagendererwamu okujjukira ameefuga ga Buganda nga 8/10/1962 era Beene yasiima n’aluwa Bulungibwansi, kisobozese abantu okugogola ebitundu mwe babeera.
Minisita Kyewalabye asiimye bannalubaga olw’okusitukiramu okulongoosa ennyanja eno naye n’ategeeza nti ebizibu ebiri ku nnyanja eno tebisobola kuggwaawo mu lunaku lumu, naye ate bisoboka singa babeera bakwataganidde wamu.
Ono asabye ekitongole kya KCCA okukola entegeka ezisobola okusengejja mukoka kuba emyala egyateekebwawo gimalirizza ziyingiza obucaafu ne kasasiro mu nnyanja eno n’asaba ekitongole kya KCCA okufulumya Pulaani esobola okugonjoola ensonga eno.
Minisita Kyewalabye asinzidde wano n’alabula abantu abateeka amakubo ku nnyanja eno kuba ennyanja eno terina kubaako makubo era n’asaba abalina ebizimbe wano, banoonye amakubo amatuufu ge balina okukozesa nga bali wamu ne Buganda Land Board.
Owek. Kyewalabye asabye abakulembeze okukwatagana baggyeko aboolezaako emmotoka kuba bano baabasasula era balina okuvaawo naye bakyalemeddewo olwa bannabyabufuzi abatya okufiirwa obululu era n’asaba abagiriko okukuuma ekitiibwa kyayo era bafube okulaba nti bagikuuma nga ya kiragala.
Ssentebe w’ekitongole ky’ebyobulamuzi era ssentebe w’enteekateeka zino, Omuk. Benon Ntambi ategeezezza nti okuyita mu kusomesa abatuuze ku kitiibwa n’obukulu bw’ennyanja eno, lye limu ku makubo eryokuyitamu okukuuma ennyanja ya Ssaabasaja nga ya mutindo n’okuzza ekitiibwa kyayo nga kisaana kyongerwemu amaanyi.
Mmeeya Mawula Mberaze ategeezezza nti bagenda kukola buli kimu okulaba nti ekitiibwa ky’ennyanja eno kikuumibwa mu mbeera yonna.