Bya Kato Paul
Nkoni – Buddu
Bannabuddu bakoze Bulungibwansi ku nguudo zonna ezoolekera Olubiri lwa Ssaabasajja Kabaka olw’e Nkoni mu Buddu ng’omu ku kaweefube w’okwetegekera Amatikkira g’Omutanda agagenda okubaawo nga 31/07/2021.
Okusinziira ku Mw. Kizito Kaawonawo ng’onoa yakulra eby’ettaka n’okuzimba ku lukiiiko lwa Ppookino olutegeka Amatikkira ag’omulundi ogwa 28, agamba nti ne Bulungibwansi akoleddwa mu ngeri ya ssaayansi okusobola okutangira abantu ba Beene okukung’aana olw’ekirwadde kya Ssennyiga Corona.
Kaawonawo agamba nti okusobola okukola mu bwangu n’okuteeka enguudo zino ku mutindo, beeyambisizza ebyuma biwetiiye ebyabaweereddwa kkampuni ya CICO.
Mu kiseera kino omulimu gw’okuyooyoota Olubiri lw’e Nkono gutambula bukwakku era amakubo gonna agagatta ku Lubiri luno galongooseddwa era ne gateekebwamu emifulejje n’ebigoma okusobozesa amazzi okutambula obulungi singa enkuba enaaba etonnye.
Omu ku batuuze abatonotono abeetabye mu kukola Bulungibwansi, Muwonge Kizitoo, nga y’omu ku beetabye mu kukola Bulungibwansi, agamba nti wadde bamukoze mu kinnassaayansi naye bafubye okulaba nti bayooyoota buli wamu, olunaku Mulindwa lusobole okutuuka nga buli kimu kiri mulaala.
Kinajjukirwa nti Omutanda yasiima Amatikkira g’omulundi guno agakulize wamu ne bannabuddu, wabula olw’ekirwadde kya COVID-19, abantu abagenda okugwetabako tebajja kusukka 20 ate abalala emikolo bajja gigoberera ku mitimbagano gy’Obwakabaka, BBS Terefayina awamu ne leediyo ya CBS.
Olunaku lw’Amatikkira lukwatibwa buli mwaka nga 31/ July, okujjukira ebyo Omutanda by’asobodde okutuusa ku bantu be awamu n’okukuba ttooci mu kusoomoozebwa okuba kw’olekedde ensi ye.