Bya Ronald Mukasa
Nakasongola – Buruuli
Abakulu okuva mu Minisitule ya Bulungibwansi, Obutonde bw’Ensi, Ekikula ky’abantu n’Amazzi mu Bwakabaka beegasse ku bantu ba Beene mu ssaza Buluuli nebakola Bulungibwansi ow’omuggundu wakati mu kusaba abantu okubeera abayonjo.
Enteekateeka eno yakuliddwamu Minisita Mariam Nasejje Mayanja wamu n’abakungu abalala nga kino kikolebwa buli Lwamukaaga olusemba mu mwezi okusobola okulwanyisa endwadde n’okutumbula obuyonjo.
Owek. Mayanja annyonnyodde nti abantu okulaakulana balina kubeera bayonjo era abalamu bwatyo naabasaba okuyonjo ebifo mwebakolera akadde konna.
Bano bakoze Bulungibwansi mu bifo okuli eddwaliro lya Health Centre IV n’ebirala bingi era wano Minisita Nkalubo yalambula ku balwadde okulaba embeera mwebali.
Enteekateeka eno yeetabiddwamu abantu ba Beene okuli bannaddiini, abakulembeze n’abaana b’ amasomero okuli St. Mary’s Nakasongola, St. Anthony SS n’amalala era bano bonna beeyamye okunyweza ekigambo ky’obuyonjo.
Abalala kubaddeko Omwami wa Kabaka atwala essaza lino, Sipiika wa Disitulikiti, abakulembeze okuva mu gavumenti eyawakati n’abalala bangi.