Bya URN
Ekitongole ekiddukanya ekibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority ku Lwokuna wiiki eno kyakufuna sipiika n’omumyukawe. Minisita mu gavumenti yawakati atwala KCCA Betty Amongi ategeezezza bannamawulire ku kitebe kyessunsuliro ly’amawulire ga gavumenti ekya Uganda Media Center, nti enteekateeka y’okufuna sipiika etandika ku saawa ssatu ez’okumakya.
Bakansala abatuula ku lukiiko luno bebagenda okwenyigira mu kulonda kuno.
Amongi yategeezezza
nti abo bokka abalina obuvunanyizibwa mu KCCA beebokka abagenda okukirizibwa mu
kisenge ekiteesezebwamu.
Embiranyi eri wakati wa banna FDC babiri Doreen Nyanjula ne
Abubaker Kawalya.
Ne munna NRM Buruhan Byaruhanga naye yeesimbyewo. KCCA erina bakansala 32 nga kubbo 18 ba FDC.
Okulonda kuno kwaddirira enkyukakyuka ezaakolebwa mu tteeka erifuga KCCA eyateetawo ekifo kya sipiika ekyali kyajjibwawo nga loodi meeya oba omumyukawe yabadde akolanga sipiika.