Abantu abalina Covid-19 mu Uganda baweze 911 oluvannyuma lw’abantu abalala mwenda okusangibwa n’ekirwadde kino.
Babiri ku mwenda Bayindi abaakomyewo mu Uganda okuva e Mumabi mu India nga Jluy 1.
Abantu 187 bebaakomawo mu Uganda oluvannyuma lw’okukwatibwa mu mawanga amalala ekirwadde kya coronavirus.
Bano okusangibwa neekirwadde kino kiggyidde mu kaseera nga eikitongole ky’ebyobulamu kyensi yonna ekya World Health Organisation [WHO] kyakalabula amawanga ga Ssemazinga wa Africa obutamala gaggula mawanga gaabwe okukkiriza abantu okuva mu mawanga amalala okuyingira.
Akulira WHO mu Africa, Dr Matshidiso Moeti, yagambye nti kyetaagisa amawanga ga Africa okwegendereza baani abayingira kubanga bayinza okufuna obantu abalina obulwadde buno abangi ng’ate amalwaliro gaabwe tegalina busobozi kulabirira balwadde bano.
Okusinziira ku WHO, amawanga 39 mu Africa gegaggala ebisaawe by’ennyonyi olw’okwetangira ekirwadde kya Covid-19 naye nga kati gazzeemu okubiggula ekiviiriddeko abantu abalina obulwadde buno okweyongera.
Dr Richard Mugahi, akulira ebifo ebikuumirwamu abantu abateeberezebwa okuba ne COVID yategeezezza URN nti abantu tebateekeddwa kweraliikirira kubanga buli muntu ayingira eggwanga asooka kukeberebwa era oluvannyuma naateekebwa mu kalantiini.
“Abamu ku bantu ababadde bakomawo mu ggwanga baalemereddwa okufuna ebbaluwa eziraga nti tebalina COVID-19 kyetuva twakkirizza buli muntu okukomewo. Naye tuli muntu alina okugenda mu kalantiini era naakeberebwa emirundi ebiri nga tannakirizibwa kugenda mu bantu,” Mugahi bweyagambye.
URN