Bya Muwuluzi Yusuf
Masaka – Buddu
Abakulembeze mu ggombolola y’e Kabonera babanguddwa ku nzijjanjaba y’obulwadde bw’olukonvuba wamu n’obulumi era nga kino kikosa obwongo bw’abalwadde wamu n’abajjanjabi.
Omukugu mu ndwadde z’olukonvuba n’obulumi, Jackie Namulondo, agamba nti obujjanjabi buno buyitibwa “Parliative Care” era ng’abantu basobola okubufuna wabula ng’ekizibu kiri mu kulondoola abantu bano gye babeera.
Omusomo guno nga gwetabiddwamu n’abajjanjabi b’abalwadde bano n’abakulembeze, guyindidde ku ggombolola y’e Kabonera mu Masaka City ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde.
Namulondo nga wa Kitovu Mobile, annyonnyodde nti mu bbendobendo lya Masaka, balina abalwadde 656 nga basinga kutawaanyizibwa Mukenenya ne Kkansa ne Nnalubiri (Sickle Cells). Okwo ssaako; Akafuba, ssukaali, Puleesa n’ebirwadde ebirala ebikwata abakadde.
“Eddagala ly’obujjanjabi buno ng’oggyeeko liquid morphine gw etufuna ow’obwereere okuva mu Minisitule y’ebyobulamu, naye eddagala eddala lya bbeeyi n’ekirala abalwadde babeera batambula eng’endo mpanvu kuba tukolera mu disitulikiti 9.” Bw’atyo Namulondo bwategeezezza abakulembeze.
Kino kye kimu ku biwalirizza aba Parliative Care Association of Uganda (PCAU) okutandika okusomesa abakulembeze ku mitendera gya wansi balabe nga mu bye bateesa ne bye bakola, balowooza ku balwadde bano naddala okubasembereza obuweereza mu bitundu gye babeera.
“Mu bitundu gye tubeera wabeerayo abantu abalina eddwadde ez’olukonvuba, aba abalina obulumi oba eddwadde ezitawona wamu n’ezitawona mangu.” Lisa Irumba nga musawo mu PCAU bw’atyo bw’atangaazizza.
Ono ayongeddeko nti bali mu kaweefube w’okusaba abakulembeze okuyambako okukubiriza abantu okugenda mu malwaliro wamu n’okuteesa ebiteeso ebiteeka abasawo b’endwadde zino mu bitundu gye babeera.
Akulira abasawo mu ddwaliro ekkulu e Masaka, Chelimo Flora, agambye nti PCAU yatandika okuwa obujjanjabi eri abalwadde mu ddwaliro ly’e Masaka mu 2011 era nga baakafuna abalwadde 23,204 era nga buli mwezi bafuna abalwadde 250.
“Bano abalwadde bangi wabula nga tulina abasawo babiri ku ndwadde zino naye tusuubira bwe twongera ku basawo, n’abalwadde bajja kweyongera okujja.” Bw’atyo Chelimo bw’ayogedde.
Bo abeetabye mu musomo guno nga bakulebeddwamu Nakisekka Janat amyuka ssentebe wa Masaka, era ono ategeezezza nti y’omu ku balozezza ku bulumi bw’okufiirwa omuntu olw’ekirwadde kya kkansa era n’asaba wabeewo ekikolebwa ku bulumi obuva ku ndwadde z’olukonvuba.