• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Eby'obufuzi

Baabano abaagala okusikira Oulanyah ku Bwasipiika

Gambuuze by Gambuuze
March 22, 2022
in Eby'obufuzi
0 0
0
Baabano abaagala okusikira Oulanyah ku Bwasipiika
0
SHARES
93
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Kampala – Kyaddondo

Ababaka abawera 13 nga bonna  bannakibiina kya NRM be baakavaayo okulaga nga bwe bali abeetegefu okudda mu bigere bya Sipiika Jacob Oulanyah eyafiiridde mu ggwanga lya Amerika gye yali yatwalibwa okujjanjabwa gye buvuddeko.

Bano kati beetegekera okulonda okugenda okubaawo nga 25 May, 2022 ku Lwokutaano luno wabula omuwendo guno gusuubirwa okweyongera okulinnya.  Bano 13 bamaze dda okuggyayo empapula ku kitebe kakiiko akakulira eby’okulonda mu kibiina kino ekisangibwa wano mu Kampala.

Anita Among

Mu bano kuliko n’abadde omumyuka wa Sipiika Anita Among era ono bw’abadde anona empapula asindise muyambi we Mary Athieno  ng’okusinziira ku ssentebe w’akakiiko kano, Tanga Odoi, Among teyasobodde kwetuukira mu buntu kuba yabadde tawulira bulungi.

Wabula wabaddewo katemba abamu ku babaka bwe bazze ne bazingako ekitebe kino nga baagala Odoi aggalewo enteekateeka y’okuggyayo empapula wabula Odoi n’abigaana nti okwewandiisa kwakuggalawo ku ssaawa 11 ez’Olweggulo.

Jackson Kafuuzi

Amyuka Ssaabawolereza wa gavumenti, Jackson Kafuuzi naye yaggyeeyo empapula okusobola okuvuganya ku kifo kya Sipiika wa Palamenti y’e 11.

Sarah Opendi

Eyaliko Minisita w’ebyobulamu ng’ayita mu David Mujulizi naye aggyeeyo empapula ng’ayagala okuddira Oulanyah mu bigere asobole okukulembera Palamenti eno.

Jackson Atima

Omubaka wa Arua Central, Jackson Atima  naye yeegwanyiza ekifo kino era yamaze dda okwewandiisa ng’asaba kimu akwasibwe bbendera y’ekibiina.

Felix Okot Ogong

Ono ye mubaka wa Dokolo South naye yataddemu okwewandiisa ng’agamba nti y’agwana ekifo kino okusobola okutambuza obulungi ensonga mu Palamenti eno.

Theodore Ssekikubo

Ssekikubo abasinga gwe bamanyi ng’omubaka munnakibiina kya NRM omujeemu naye amaze okwewandiisa nga kati alinze kimu kulaba oba ekibiina kinaamuwa omukisa.

Jacob Oboth Oboth

Omubaka wa West Budama South, Jacob Oboth Oboth agambibwa okulekulira ekifo kye ekya Minisita omubeezi ow’ebyokwerinda asobole okuvuganya ku kifo kya Sipiika.

Alex Brandon

Alex Kintu Brandon y’akiikirira Kagoma North era omwogezi w’akabondo ka NRM naye amaze okwewandiisa ku kifo kino.

Hamson Obua

Minisita omubeezi ow’ebyemizannyo, Denis Hamson Obua, naye ayingidde olwokaano okuvuganya ku ntebe eno.

Jane Ruth Aceng

Minisita w’ebyobulamu Jane Ruth Aceng eyayatiikirira ennyo olw’engeri gye yakulemberamu olutalo lw’okulwanyisa ekirwadde kya Corona naye amaze okuteekamu okusaba ng’ayita mu muyambi we, George William Ssebamala, okuddira Oulanyah mu bigere.

Florence Asiimwe

Asiimwe ye mubaka omukyala owa Masindi  naye amaze okuteekamu okusaba ng’ayagala ekibiina kye kimulonde akikwatire bbendera ku kifo kya Sipiika.

John Okot Amos

Omusumba  Amos naye agamba nti ekifo kino asobola bulungi okukitambuza singa ekibiina kye ekya NRM kibeera kimuwadde bbendera.

Pius Wakabi

Ono asibuka Hoima era ye mubaka wa  Bugahya, Pius Wakabi Rujumba  naye amaze okulaga nti ekifo kino akyagala.

Ababaka abalala abaagala ekifo kino kuliko  aba Opozisono okuli; omubaka Asuman Basalirwa ne Ssemujju Nganda  baagala bwasipiika ate Charles Ttebandeke ayagala bumyuka bwa Sipiika.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.