• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Asanyawo Obutondebwensi Mulabe wa Buwangwa

Gambuuze by Gambuuze
October 26, 2024
in Amawulire
0 0
0
Asanyawo Obutondebwensi Mulabe wa Buwangwa
0
SHARES
54
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Shafik Miiro

Mengo – Kyaddondo

“Obuwangwa n’Ennono ng’Omusingi ogw’okukuuma Obutondebwensi” gwe mulamwa ogutambuliziddwako omusomo gw’Obuwangwa n’Ennono 2024 oguyindidde mu Lubiri e Mengo ku Lwokutaano nga 25 Mukulukusabitungotungo. Obubaka bwonna obuweereddwa mu musomo guno bunnyonnyola obukulu bw’obutondebwensi eri Obuwangwa.

Ssaabasajja Kabaka yasiimye n’aweereza obubaka bwe yatisse Omulangira Dr. Kassim Nakibinge Kakungulu, muno mw’ayise n’alaga obwennyamivu olw’engeri Obutondebwensi gye butaaguddwataaguddwa ensangi zino, era asabye wabeewo ekikolebwa mu bwangu ddala.

“Omulamwa gwe mwalonze gusaanidde nnyo olw’embeera ffenna gye tulaba ng’Obutondebwensi bukosebwa nnyo ensangi zino, Abataka musaanidde okubeera eky’okulabirako eri bazukkulu bammwe n’abantu abalala nga mukuuma obutaka bw’Ebika n’okubirwanirira ng’essira liteekebwa mu kukuuma Obutondebwensi” Kabaka Mutebi II.

Omulangira Dr. Kassim Nakibinge asinzidde wano n’alabula abantu ba Buganda ku kutunda ettaka, ky’agambye nti kigenda kutuuka okubafuula emmombozze mu Nsi yaabwe, akaalatidde abantu bonna mu kifo ky’okutunda ettaka balikolereko emirimu ng’okulima, okulonda n’ebirala. Dr. Nakibinge agamba nti obugagga obuli mu ttaka si kulitunda wabula kulikolerako.

Omumyuka Asooka owa Katikkiro Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo y’akiikiridde Katikkiro ku musomo guno era ono asoomoozezza abantu ku ngeri gye bakwatamu ensonga y’Obutondenwensi ng’agamba nti singa embeera esigala nga bweri, Eggwanga lyolekedde ekiseera ekizibu. Ategeezeza nti kyenkana buli kyetaago mu bulamu bw’omuntu okuviira ddala ku mukka ogussibwa kyesigamya ku butonde, era nti n’emiziro gy’Abaganda gyonna butonde anti emiziro; bisolo, binyonyo, bimera n’ebirala byonna okubikuuma, kutaasa butondebwensi.

Supreme Mufti Sheikh Muhammad Galabuzi asinzidde mu musomo guno n’avumirira abo abanafuya obuwangwa n’obutondebwensi nga beerimbika mu ddiini, ono agamba nti n’Omubaka Muhammad, yagamba abagoberezi be nti abantu banaafunanga eddagala okuva mu ebyo ebibeetolodde omuli Emiti, emiddo, ebisolo n’ebirala. Ono bwatyo akubirizza abantu okufaayo okukuuma obutondebwensi, era yebazizza nnyo Abataka Abakulu Ab’Obusolya olw’okutegekanga Omusomo olw’engeri eno.

Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka Omutaka Nnamwama Augustine Kizito Mutumba, agamba nti waliwo abanafuya obuwangwa bwabwe ate ne beefula abaagala ennyo eby’abazungu nga tebewaddeyo kulowooza ku bugagga buli mu buwangwa bwabwe. Alaze obwennyamivu olw’ebibira, entobazi n’ennyanja ebisanyizibwawo, by’agambye nti Obuwangwa bw’Abaganda bwonna mwe bwetoololera.

Nnamwama Mutumba agamba nti omulamwa gw’omwaka guno gwesigamizibwa ku kutaasa obutondebwensi olw’okwagala okunyweza obuwangwa bwa Buganda abantu bongere okubutegeera n’okubweyagaliramu. Bwatyo yeebaziza abazukkulu bonna abeetabye mu musomo guno ogw’omulundi ogw’okutaano, ne yebaza ne Ssaabataka olw’okusiima omusomo gubeere nga mu Lubiri buli mwaka.

Minisita w’Obuwangwa n’Ennono Owek. Anthony Wamala, asiimye nnyo buli alina ky’akoze omusomo guno okuyimirirawo, era ategeezeza nti Obwakabaka buli mu nteekateeka ey’okulambula obutaka bw’Ebika byonna mu Buganda, n’ekigendererwa eky’okuzza omugundu mu Bika n’okunnyikiza Obuwangwa n’Ennono za Buganda.

Omusomo guno gwetabiddwamu abantu abasoba mu 1000, omuli Abataka n’abazukkulu, era wabaddewo n’okugaba endokwa z’emiti egy’enjawulo ng’akabonero ak’okukubiriza abantu okusimba emiti okutaasa obutonde. Abasomesa ab’enjawulo omuli abakugu mu by’obutondebwensi, bannabyafaayo n’abamanyi mu by’Obuwangwa basomesa ebintu eby’enjawulo.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.