Tiimu y’omupiira gw’ebigere egukyangira amukibinja kyaba binywera ku Lukalu lwa Bulaaya eya Arsenal egobye abadde omutendesi waayo U, oluvanyuma lw’okukubwa eggulo tiimu ya Eintracht Frankfurt nga eno egukyangira Bigirimaani, ggoolo 2 -1. Mukiwandiiko eri abannamawulire, Josh Kroenke, omu kabannayini tiimu eno, yategeezezza nti babadde tebasobola kugenda mumaaso na Unai ng’ono ava mu ggwanga lya Spain olw’omutindo omubi tiimu eno gweriko. Nga bwebanonya anamuddira mubigere, Kroenke yategeezezza nti Freddie Ljungberg alondeddwa okugiranga atendeke tiimu eno. Arsenal yeemu kuttiimu za Bungereza ezisinga amanyi wabula ennaku zino ebintu tebigitambulira bulungi anti buli tiimu egikwatako ewuttula mputtule.