Bya Musasi Waffe
Kampala
Nnampala wa gavumenti era Omubaka Ruth Nankabirwa, ategeezezza olunaku lwaleero nti anaakwatira ekibiina kya NRM bbendera ku bifo okuli ekya Sipiika n’omumyuka we, bajja kubalondera Kyankwanzi.
Bino Nankabirwa abyogeredde mu nsisinkano gy’abaddemu ne bannamawulire abagasakira mu Palamenti. Nankabirwa ategeezezza nti olukiiko olufuzi olw’ekibiina olumanyiddwa nga CEC lugenda kutuula okulaba gwe lunaalondawo okukwata bbendera.
Enkalu okusinga ziri ku kifo kya Sipiika nga aliko Rebecca Kadaga agenda kuvuganya n’abadde omumyuka we Jacob Oulanyah okulaba anaakubiriza Palamenti y’e 11.
Omubaka Nankabirwa agamba nti guno si gwe mulundi ogugenda okusooka naye enkola bw’etyo bw’ebadde nga bannakibiina bonna abeegwanyiza okufuuka basipiika, amannya gaabwe gaweerezebwa mu CEC, abakulu ne balondawo agwanidde.
Ono ategeezezza nti singa banaalemwa okukkaanya ku ensonga y’ani agwanidde okwesimbawo ku babiri bano bajja kudda bategeeze Palamenti ku oyo ekibiina gwe kironze. Alabudde oyo yenna asuubira okujeemera ekibiina obutakemebwa kwesimbawo ku lulwe.
W’osomera bino ng’olwokaano lukyalimu Sipiika Rebecca Alitwala Kadaga, omumyuka we Jacob Oulanyah ne Munnakibiina kya Forum for Democratic Change (FDC), Ibrahim Ssemujju Nganda.
Ebbugumu eryamaanyi liri wakati wa Kadaga ne Oulanyah era buli ludda luwuliddwa nga lwogerera lunnaalwo amafuukuule.