
Bya Ssemakula John
Mityana
Amyuka Ssaabawandiisi w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM), Rose Namayanja akuutidde abazadde bulijo okukuza abaana obulungi mu kifo ky’okumala obudde nga babakung’aanyiza obugagga awatali kubategeka.
Bino yabyogeredde ku kyalo Nabwendi mu ggombolola ye Kikandwa mu disitulikiti ye Mityana bweyabadde yeetaabye ku mukolo gw’okutikkira abatuzu ba Good Foundation primary school abamazeeko Nnasale.
“Temwemalira nnyo kukung’aanyiza baana bammwe bintu byebagenda kusikira naye mubakuze nga mubalambika era mubeera eky’okulabirako gyebali basobole okutuukiriza ebigendererwa byabwe mu bulamu,” Namayanja bwe yagambye.
Namayanja yasabye abazadde okuwa abaana babwe ewatali ku basosolamu mu kikula ebyenjigiriza ebisinga kuba abaana abawala n’abalenzi bonna bamugaso mu nkulaakulana y’ensi.
Namayanja eyabadde awerekeddwako omwami we, Charles Nsereko n’amyuka Ssentebe w’ekibiina mu Buganda, Godfrey Kiwanda yasabye abantu okwongera okukola nga tebeebalira.
Bano basookedde Kalangalo ku kkanisa ya Nakawere Seventh day Adventist Church gyebasondedde ssente okuzimba ekizimbe ekipya.
Ono yawaddeyo ensawo za seminti 90 ziyambeko ku mulimu guno kuba ekkanisa eno eyambye nnyo okulyowa abantu n’okubakwasa ekkubo etuufu.









