Bya Ssemakula John
Kampala
Akwatidde ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) bbendera, Patrick Oboi Amuriat, avumiridde enneeyisa y’abeebyokwerinda n’engeri gye bamukuttemu bw’abadde agenda okwewandiisa ku kisaawe e Kyambogo.
Amuriat ab’ebyokwerinda okubadde amagye ne poliisi bamukutte ne bamuteeka mu mmotoka yaabwe olwo ne bamutwala ku kisaawe e Kyambogo we babadde beewandiisiza. Ono atuuse talina ngatto mu bigere.
“Leero nzize okwewandiisa ng’omusibe, oluvannyuma lw’okuwambibwa nga ngezaako okufuna ebiwandiiko byange okuva ku woofiisi yange e Najjanankumbi, mpambiddwa ab’ebyokwerinda nebanteeka mu mmotoka kika kya Saluuni era bampisizza ddala bubi.” Amuriat bw’agambye
Ono ng’addiridde Kyagulanyi mu kwewandiisa, ategeezezza ssentebe w’akakiiko kano, Omulamuzi Byabakama, nga bw’aleeteddwa ng’omuwambe.
Oboi ategeezezza bannamawulire nga bwe yawambiddwa poliisi wakati ng’agenda ku kitebe ky’ekibiina e Najjanankumbi okufuna empapula ze wamu n’okwegatta ku bantu b’abadde alina okugenda nabo.
Amuriat atuukidde mu bigere, agambye nti abadde afa kimu kumukakasa nga kati ebikolwa bya poliisi nga bino tebigenda kumulemesa kunoonya kalulu.
Oboi alaze abantu by’asuubira okutandikirako ng’alondeddwa era nga mu bifo mulimu okutwala mu maaso enkola ya ‘Defiance’ eyatandikibwa Dr. Kizza Besigye.
Asuubizza okuyamba bamufunampola okusitula embeera zaabwe basobole okweyagalirira mu ggwanga lyabwe.
We tukoledde eggulire lino nga poliisi tennavaayo mu butongole kunnyonnyola nsonga zaakwasizza Amuriat.