Bya Ssemakula John
Kampala
Gavumenti y’Amerika etabukidde abanene mu Uganda abeenyigira mu mivuyo gy’akalulu ka 2021 bw’ebataddeko natti ng’ebavunaana okulinnyirira eddembe ly’obuntu.
Okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa Minisita w’ensonga z’ebweru owa Amerika, Antony John Blinken, ategeezezza nti Uganda ezze nnyo emabega mu nsonga za Demokulaasiya era kino kyeyolekera mu kalulu akawedde aka 2021.
“Leero tulangirira natti ku ntambula z’abakungu ba Yuganda abaayisa olugaayu mu demokulaasiya w’eggwanga eryo mu kalulu akawedde aka 2021 akaakubwa nga January 14 n’emivuyo egyali mu kkampeyini.” Ekiwandiiko kya Blinken bwe kisomye.
Kino kiddiridde bannansi abawera 50 okufiirwa obulamu mu kwekalakaasa okwaliwo mu Novemba 18 ne 19 oluvannyuma lw’okukwatibwa kwa Robert Kyagulanyi aka Bobi Wine bwe yali e Luuka ng’anoonya akalulu era ekyaddako abantu abawerako baakwatibwa ne baggalirwa.
Oluvannyuma lw’okwekalakaasa ab’ebyokwerinda okwali amagye ne poliisi baayolesa obukambwe ku bannakibiina kya National Unity Platform ekikulirwa Bobi Wine.
Bannakibiina bateeka gavumenti ku nninga ku by’okukwata abawagizi baabwe era nayo n’ekkiriza nga bwe waaliwo abaakwatiddwa.
Olunwe okusinga Amerika erutadde mu b’ebyokwerinda okulinnyirira eddembe ly’obuntu n’esaba wabeewo ekikolebwa okuvunaana abakulu bano.
“Gavumenti ya Uganda erina okubaako ky’ekola evunaane abantu baayo abeetaba mu mivuyo gy’okulonda, okutiisatiisa wamu n’okubatulugunya. Amerika ejja kugenda mu maaso n’okwekenneenya engeri ensonga za demokulaasiya gye zikwatiddwamu.” Ekiwandiiko bwekigasseeko.
Wadde Amerika erangiridde natti ku bannayuganda naye tefulumizza lukalala lwa amannya g’abo abasongeddwamu olunwe.
Bino we bijjidde nga Minisita w’ensonga ez’ebweru mu Uganda, Sam Kuteesa yaakamala okutegeeza akakiiko k’ebyokwerinda ak’amawanga amagatte nga mu Yuganda bwe mutali kiwambabantu nga bwe kibadde kyogerwa.