Bya Ssemakula John
Bulange -Mmengo
Ambasada w’eggwanga lya Hungary atuula mu kibuga Nairobi ekya Kenya, akiise Embuga mu kaweefube w’okunyweza n’okutumbula enkolagana wa Hungary n’Obwakabaka bwa Buganda.
Ensisinkano eno yabadde ku mbuga enkulu e Bulange- Mmengo mu Kampala.
Abakungu b’ekitebe kya Hungary baakulembeddwamu Ambasada Zsolt Mészáros era ku lwa Buganda, Minisita avunaanyizibwa ku woofiisi ya Nnaabagereka, Owek. Prosperous Nankindu ye yabanirizza.
Bano beevumbye akafubo akatakkiriziddwamu bannamawulire ne Minisita Nankindu wabula bwe kaawedde, Owek. Nankindu yayanjudde ebikulu bye baateesezzaako. Minisita Nankindu yannyonyodde nti bakkaanyizza okwongera okutumbula enkulaakulana mu bantu ba Kabaka.
“Bawa abaana omukisa gw’okusoma era bawa Uganda Sikaala 20 buli mwaka okugenda e Hungary okusoma naye ez’omwaka guno zaaweddewo naye omwaka ogujja atusabye twetabe mu kuvuganya tulabe oba tunaaweereza abaana okusoma.” Owek. Nankindu bwe yategeezezza.
Okusinziira ku Minisita Nankindu bano baasiimye Maama Nnaabagereka olw’okulaba ng’anyweza empisa ez’obuntubulamu mu miti emito wamu n’okulwanirira embeera y’omwana omuwala.
Abakungu ba Hungary beeyamye okutumbula eby’obulamu ssaako n’okukwasizaako Obwakabaka mu by’emizannyo nga bayita mu kuleeta omuzannyo ogwa TEQBALL nga guno gugatta Tennis ow’okummeeza ssaako omupiira gw’ebigere.
Bagasseeko nti lino lye limu ku makubo ge bakakasa agayinza okukozesebwa okutumbula emirembe mu bantu ba Kabaka.