Bya Stephen Kulubasi
Minisita w’Obwakabaka bwa Buganda ow’ebyenjigiriza, ebyobulamu n’ekikula ky’abantu, Owek. Prosperous Nankindu Kavuma, afulumizza enteekateeka z’amatikkira ga Ssettendekero wa Muteesa I era ng’akikkaatirizza nti gano gagenda kukolebwa mu ngeri ya kinnassaayansi okusobola okutangira okusasaana kwa Ssennyiga omukambwe Corvid 19.
Gano gagenda kubaayo ng’ennaku z’omwezi mukaaga omwezi ogusooka ogw’omwaka omuggya ogwa 2021, e Kirumba mu Masaka ku Ssettendekero.
“Ffe abatono tugenda kubeera Masaka naye abangi bagenda kubeera waka ku leediyo ne ttivvi nga gye bakubira enduulu n’abenganda zaabwe oluvannyuma lw’okuwulira okusomwa kw’amannya gaabwe.” Owek. Nankindu bw’ategezezza. Bino abyogedde nkya ya leero ku Bulange bw’abadde ayogerako eri bannamawulire.
Mu ngeri y’emu, minisita ategeezezza nti Ssettendekero ono agenda kwogera amaanyi mu tekinologiya okusobola okukuumira abayizi ku mulembe wamu n’ebyobululimi, abayizi basobole okukwatagana n’enteekateeka z’Obwakabaka ez’obulimi n’obulunzi.
Owek. Nankindu asabye abantu bagoberere emikolo gy’amatikkira ku mikutu kwe ginaalagibwa bajagulizeeko abatikkiddwa. Gano ge matikkira ag’omulundi ogwomwenda bukya Ssettendekero wa Kabaka ono atandika okutikkira, era nga ku mulundi guno baakutikkira abayizi lukaaga.